Ebyemizannyo

Algeria eyimirizza emipiira

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Player killed

Algeria eyimirizza okuzannya omupiira okumala ekiseera ekitali kigere oluvanyuma lw’okufa kw’omuzannyi wa Cameroun Albert Ebosse

Kino kisaliddwaawo ekibiina ekitwala omupiira gw’ebigere mu ggwanga lya Algeria

Ebosse, ow’emyaka 24 yakubiddwa ejinja ku mutwe n’afa bweyabadde ava ku kisaawe ng’eggwanga lye lisamba ne Algeria

Ab’obuyinza mu Algeria babadde balangiridde dda okuggala kw’ekisaawe omwabadde omupiira guno nga kino kyazimbibwa mu mwaka gwa 1954