Olwali

Abalina sayidi-Diishi balidde nga balimi

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Abantu abayiiya ensimbi tebaggwaayo Mu ggwanga lya America, waliwo kkampuni ekubisizza kaadi nga ziranga abakyala b’okusanyusaamu ababeetaaze. Kaadi zino zikoleddwa nga zigulwa bafumbo bokka abagaala okuziwereeza baganzi baabwe ab’ebbali era nga zisindikibwaako obumuli ne mu choclate Ab’omukutu guno bbo bagamba nti ogwaabwe gwakukwatagana basajja n’abakyala […]

KCCA ewanduse mu CECAFA

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Tiimu ya KCCA ewanduse mu mpaka za CECAFA Kagame cup. Kiddiridde okukuba Elmerrik eya Sudan goolo 3 ku emu mu kusimula obunnya Eddakiika ekyenda ekyasoose , KCCA ne Elmerrik bonna bafunye goolo bbiri ng’eza KCCA zateebeddwaTom Masiko ate Brian Umwonyi mu kitundu eky’okubiri

Obuzigu mu kampala- Abazigu babakutte

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Poliisi e Kabalagala ekutte omu ku batujju abaabadde batigomya ab’omu bitundu bino Isa Okello yakwatiddwa ng’agezaako okunyagulula ekirabo ky’emmere ekimanyiddwa nga Abeneti ekisangibwa e Kabalagala Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agambye nti omusajja ono basuubira nti yoomu ku kibondo ky’ababbi abatigomya ababeera […]

Akatimba k’ensiri kabikka ndokwa za bitooke

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Waliwo omukyala akwatiddwa ng’akozesa akatimba k’ensiri akakamuweebwa okubikka endokwa z’ebitooke Rita Kalungi mutuuze we Nabweru ku njegoyego z’ekibuga kampala. Kalungi tasaaga abadde akatimba akeetolozza ku nnimiro y’endokwa z’ebitooke ng’azitaasa ku mbuzi ezitera okuzirya Atwala poliisi ye Nabweru, Juliet Akuru agamba nti omukyala ono agenda kuggulwaako […]

Abadde abba omwana akwatiddwa

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Poliisi e Masaka ekutte omukyala ow’emyaka 33 ng’abba omwana omuwere mu ddwaliro Prossy Namugera nga mutuuze we Kayirikiti Nyendo akwatiddwa luno ne bbebi omulenzi ng’ono abadde wa Christine Nakintu Nakintu webamubbiddeko omwana abadde yeebase nga tawulira omukyala ono n’asitula omwana okuva ku kitanda kw’abadde Wabula […]

Akabenje ka Baasi akalala- 12 balumiziddwa

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Abantu 12 beebasumattuse akabenje ku luguudo oluva e Gulu okudda e Atiak Baasi ebadde ekubyeeko abantu number UAU 708 B eremeredde omugoba waayo neyefuula Baasi eno eya Friendship Buses ebadde n’abasaabaze 35 kyokka nga 12 beebaddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka Dereeva wa baasi ono […]

Omusumba Yiga awaabiddwa lwabutalabirira mwana

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Waliwo omukyala akubye omusumba Augustine Yiga abizzaayo mu kkooti lwakumuzaalamu mwana n’amusuulawo n’omwana we Brenda Nalubega alina omwana wa myaka mukaaga era nga we wetwogerera yagobeddwa mu nyumba. Omukyala ono amakanda kati yagasimbye ku kkanisa eya Christ the Lord esangibwa e Mpererwe nga gy’asula Omulamuzi […]

Omusawo Omufere akwatiddwa

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Poliisi ye Mulago eriko omusawo omufere gwekutte . Silver Oringa nga akola n’ekitongole ekiddukirize ekya Red  Cross abadde ajja ku balwadde ensimbi nga abakolerako mu paakingi y’emmotoka.   Atwala poliisi y’eMulago , Hashim Kasinga agamba bazze bamulinya akagere nga baamukutte lubona ekiro ekikeesezza olwaleero nga […]

Asazeeko ssenga we omutwe

Ali Mivule

August 21st, 2014

No comments

Poliisi e Luweero ekutte omusajja akkidde senga we n’amusalako omutwe ng’entabwe yonna byabugagga Henry Kasibante omutuuze we Kiwogozi e Kasana yakozesezza ejjambiya okutta ssenga we n’omulambo n’agusuula mu kabuyonjo Abatuuze bagamba nti omuvubuka ono aludde ng’alina obutakkaanya ne senga we nga balwana ettaka eryalyakebwa taata […]

Ebya USAFI bizzeemu

Ali Mivule

August 21st, 2014

No comments

Omubaka wa pulezidenti mu kampala Aisha Kabanda ayingidde mu nsonga z’abasuubuzi abagamba nti baagula emidaala mu USAFI. Kabanda agamba nti abasuubuzi bano bonna bagenda kuliyirirwa ra ng’ataddewo ne ofiisi enayambako abantu. Ono agamba nti kikyaamu okulyamanya abantu Wabula yye maneja wa USAFI Umar SSekamatte agamba […]