Amawulire

Omusumba Yiga awaabiddwa lwabutalabirira mwana

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Pastor Yiga

Waliwo omukyala akubye omusumba Augustine Yiga abizzaayo mu kkooti lwakumuzaalamu mwana n’amusuulawo n’omwana we

Brenda Nalubega alina omwana wa myaka mukaaga era nga we wetwogerera yagobeddwa mu nyumba.

Omukyala ono amakanda kati yagasimbye ku kkanisa eya Christ the Lord esangibwa e Mpererwe nga gy’asula

Omulamuzi wa kkooti ye Nabweru, Sarah Mutebi alagidde Yiga okulabirira ono ng’amuwa emitwalo munaana ez’enyumba buli mwezi n’emitwalo emitalala 15 okumulabirira.

Brenda abadde mu kkooti atutegeezezza nti yasazeewo okugenda mu kkooti kubanga akooye okwegayirira omusumba ono.

Agamba nti yasooka ensonga z’azitwala ku poliisi era n’asasulako kyokka oluvanyuma n’addamu obutamulabirira ekyamuwalirizza okugenda mu kkooti ku luno

Omuwala ono era agamba nti omusumba amutiisatiisa obutagamba bantu kigenda mu maaso kyokka nga naye embeera yemuwalirizza okutuuka ku ky’aliko