Amawulire

Ensimbi z’ababala abantu zongezeddwa

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Census

Ab’ekitongole ekikola ku by’okubala abantu bagonze nebongeza ku bagenda okubala abantu ensimbi

Kiddiridde abatendekebwa okubala abantu e Kawempe okuva mu mbeera nebeekalakaasa ssabbiiti ewedde nga bagamba nti enkumi essatu ezibaweebwa olunaku ntono nnyo

Bano kati bakusasulwa shs 5000 ate bwebanamala okutendekebwa olunaku lw’enkya basasulwe enkumi ssatu buli lunaku okutuusa lwebanaamala okubala abantu

Nga buli kimu kiwedde bakusasulwa omusaala gwa mitwaalo 20 buli omu.

Akulembeddemu eddimu ly’okubala abantu Francis Mashate agamba nti basazeewo okukyuusamu okusobozesa abantu bano okukola obulungi emirimu gyaabwe

Okubala abantu kutandika ku kw’okuna lwa ssabbiiti eno