Amawulire

Eyatta mukyala we asibiddwa emyaka mukaaga

Ali Mivule

August 28th, 2014

No comments

Man kills wife

Omusajja ow’emyaka 30 asindikiddwa mu kkomera yeebakeyo emyaka mukaaga lwakukuba mukyala we n’amutta

Omulamuzi wa kkooti ya Cityhall Moses Nabenda y’asibye Katende lwkautta mukyala we Ruth Gasangaire n’amutta

Omulamuzi agambye nti Katende yalina kukuuma mukyala kyokka ate kyewunyisa nti ate yeeyakuba mukyala we ebikonde ebyamuviirako n’okufa

Katende mukuumi mu baala e Kulambiro Kawempe era nga kigambibwa nti okukuba mukyala we yali anywedde enjaga.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwaamu Joyce Anyango luleese abajulizi mukaaga abalumirizza omusajja ono okutta mukyala we

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *