Amawulire

Teri kuddamu Kukkiriza babaka kwewola

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Kadaga worried

Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga, atabukidde ababaka ba palamenti ababadde bagufudde omuze okwewola ensimbi mu bank ez’enjawulo.

Sipiika ategeezezza nga palamenti bw’etagenda kuddamu kweyimirira mubaka yenna ayagala okwewola ensimbi mu kisanja kino.

Kadaga agambye nti ababaka bonna abaagala okwewola tebagenda kukkirizibwa kusinga yo musaala gwaabwe okufuna ensimbi.

Kadaga okwogera bino abadde awayaamu nebannamawulire mu palamenti olunaku olwaleero.

Bino webigyidde ng’ababaka abasinga obungi amabanja gabali mu bulango era nga waliwo n’ebigambibwa nti waliwo abaafuna obukadde 110 okusasula amabanja gano nga mu bano mwemuli n’abavuganya