Amawulire

Abatuuze be Namayingo baakubalibwa

Ali Mivule

August 24th, 2014

No comments

 

ashaka

E Namayingo kyadaaki abakungu okuvva mu uganda  ne Kenya bakiriziganyizza ku ky’okubala abantu ababeera ku kazinga ke migingo, akaludde nga kaliko  enkaayana.

Bino okutuukibwako kidiridde ensisinkano wakati w’omubaka wa president mu district ye Namayingo Mpimbaza Ashaka kkone nemunne gwebafanaanya emirimo mu district ye Nyapike eye Kenya  Namutala James.

Bano bakaanyiza nti okubala banna-uganda ababeera mukitundu kino kugende mu maaso,awatali kusika muguwa kwonna.

Ashaka atutegeezeza nti okubala abantu  mu kitundu kino kugenda kumalira dala enaku 4 okuvva nga 28, wabula nga abagenda okubala bagenda kuwerekerwako abaserikale abawerera dala.