Amawulire

Katikkiro mutaka e Bungereza

Ali Mivule

August 22nd, 2014

No comments

Katikkiro in Bungereza

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mutaka mu ggwanga lya Bungereza  okwongera okusonda ettoffaali okuzimba Obuganda.

Katikkiro wakwetaba mu mikolo egitegekeddwa abaganda ababeera eno eginabeeera wo olunaku olwenkya ku Makya .

Olw’eggulo ate Katikkiro wakugendako mu muzannyo gwa ba Ebonies ogutegekeddwa mu mu ggwanga eryo nga era ensimbi zonna ezinavaamu zaakussa bijjukizo ebya ba Ssekabaka mu nyumba ya Muzibu azaala Mpanga.

Oluvanyuma Katikiro wakutalaaga amawanga g’abazungu amalala okwongera okusonda ettoffaali okuzza Buganda ku ntiko.

Kino wekigyidde nga n’ekisaakate kya Maama Nabageraka nakyo kijjibwaako akawuuwo  mu ggwanga lya Canada nga era na kino Katikiro wakukyetabamu wamu ne maama Nabageraka nga kikomekerezebwa nga 29 omwezi guno.