Amawulire

Ttiyagaasi e Masaka

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Teargas in Kla

Poliisi e  Masaka ekubye omukka ogubalagala okugumbulula abatuuze mu kabuga k’ekidda abakedde okwekalakaasa lwakumala bbanga nga tebalina masanyalaze.

Bano batadde emisanvu mu makubo gonna agayunga ku tawuni y’emasaka nga era bagookyerezzamu ebipiira.

Abatuuze bano bagamba baakamala ennaku 4 mu kibululu bukyanga aba UMEME batwala tulansifooma egaba amasanyalaze mu kitundu kino.

Yye aduumira poliisi mu bukiina ddyo bwa Masaka  Maxwell Ogwal, avumiridde ekikolwa kino n’ategeeza nga bano bwebandilowoozezza ku ngeri endala ey’okulaga obutali bumativu bwaabwe mu kifo ky’okwekalakaasa nga boonoona ebintu.

Ogwal wabula era aneneyezza aba UMEME obutasookanga  kwogeraganya n’abatuuze bwebaba baddabiriza amasanyalaze mu kitundu okwewala abantu okuva mu mbeera lwabutamanaya kigenda maaso.