Ebyobulamu

Amakerenda g’ebiwuka gazze

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Kkampuni enkozi y’eddagala eya Glaxo-Smith kline eriko amakerenda g’ebiwuka g’etonedde abaana mu mawanga  agakyakula mu Africa Eddagala lino libalirirwaamu obuwumbi 4. Akulira kkampuni eno mu Uganda, Nathan Wasolo agamba nti amawanga agawera agali wansi w’eddungu Sahara gagenda kufunamu nga muno mw’otwalidde ne Uganda. Agamba nti […]

Abasawo abasirisa batono

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Ekibiina ekigatta abasawo abasirisa abagenda okulongoosebwa kisabye gavumenti okutereeza embeera mwebakolera. Amyuka akulira ekibiina ekigatta abantu bano Paul Masereka agamba nti emirimu gyaabwe mikulu nnyo eri eggwanga kyokka nga tebafiibwaako. Bagala era gavumenti eyongere n’okutendeka abasirisa abalala okulaba nti omuwendo gwaabwe gweyongera kubanga batono mu […]

Tubikolako-gavumenti egumizza abasawo

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Minisitule y’ebyobulamu asabye abakulembeze b’ama disitulikiti okuwaayo amannya g’abasawo abatannaba kusasulwa misaala gyaabwe Kiddiridde abasawo mu disitulikiti ye Bushenyi ne Ishaka okwekalakaasa olw’emisaala egitannasasulwa ate ng’abalala babasalako ensimbi zebatategeera. Omwogezi wa minisitule, Rukia Nakamatte agamba nti ekiyinza okukolebwa kwekukolagana okulaba nti abatannaba kusasulwa bategerekeka. Mu […]

Embwa ezitayaaya ziyitiridde

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Ab’ekitongole ekitereka eddagala basabye minisitule ekola ku gavumenti ez’ebitundu okuyisa amateeka aganayamba okukendeeza ku mbwa ezitayaaya Kiddiridde abantua bawerako okulumwa embwa  nga n’eddagala mu malwaliro awamu ttono okukola ku muwendo ogulinnye Owmogezi w’ekitongole kino Daniel Kimosho agamba nti yadde bakyalina eddagala erigema abantu abalumiddwa embwa, […]

Abavubuka ba NRM balumbye ekitebe ky’ekibiina

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Enkayana mu kibiina kya NRM Zikutte wansi ne wagulu nga kati waliwo ekibinja ky’abavubuka okuva mu zi yunivasite ezenjawulo abasazewo okulumba ekitebe ky’ekibiina wali e Kyaddondo nga bawakanya endoolito ezigenda maaso mu kibiina kyaabwe. Bano era baagala akulira abavubuka ba NRM bonna mu ggwanga Dennis […]

Entalo mu NRM zifuuse Namulanda

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Akakiiko akakwasisa empisa ak’ekibiina kya NRM tekannasalawo kyakukolera eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga prof, Gilbert Bukenya olw’okuwagira ow’oludda oluvuganya gavumenti  Brenda Nabukenya mu kulonda kwe Luweero okwakaggwa. Wiiki ewedde Bukenya yakubira Nabukenya kampeyini ekimenya ssemateeka wa NRM. Kati akola nga ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM  Richard Twodong […]

Emirambo 2 e Ssembabule

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Entiisa ebutikidde abatuuze mu district ye Sembabule oluvanyuma lwokugwa ku mirambo ebiri mu bitundu bibiri ebyenjawulo. Abagenzi bategerekese nga  Moses Muhwezi omutueze we Kabale mu gombolola ye  Lwebitakuli nga ssentebe w’ekyalo kino Godfrey Tumwekwase ategezezza nga omulambo gwono bwegusangiddwa nga gugangalamye kumpi n’edduuka ly’omutuuze ategerekese […]

Abalamazi batandise okutuuka

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Abalamazi abasoba mu 100 beebamaze okutuuka e Namugongo ng’ebula ennaku ntono olunaku lwa bajulizi lutuuke Akola ku nsonga z’abajulizi ku kiggwa e Namugongo, Father Joseph Muwonge agamba nti mu bazze mwemubadde n’abatambuzza ebigere okuva e Rwanda Abalala bavudde Bushenyi, Masaka, ne Nebbi. Father Muwonge agamba […]

Emyaka 100- omumuli gwa poliisi gutandise okutambula

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Poliisi esuubizza okukozesa emyaka gino ekikumi gyekuza okuweyubula n’okukyuusa ekifanaanyi kyaayo Olwaleero omumuli gwa poliisi ogugenda okutambuzibwa okuyita mu disitukiti zonna eza Uganda gusimbudde okuva ku poliisi ya jinja Road nga gusookedde mu buvanjuba bw’eggwanga Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi y’akoze omukolo […]

Musooke muteese nga temunnagoba Bukenya

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Ekibiina kya NRM kisabiddwa okusooka okukola ku bizibu ebiruma bannakibiina nga tebannapapiriza kubonereza abo abawagira abalala. Kiddiridde eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya okugenda e Luweero n’ayiggira munna DP akalulu era ng’ekibiina kyatiisizza dda nga bw’agenda okubonereza. Omubaka we Makindye mu buvanjuba John Siimbwa agamba […]