Amawulire

Namugongo atandise okuwuuma- abalamazi bayiika

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Ng’ebikumi n’ebikumi byabakulisitu bakyesomba okugenda e Namugongo okulamaga olwabajulizi abatiibwa, bbo abakulira ekijukizo kya St Balikuddembe baakujukira nga bwejiweze emyaka 50 bukyanga bajulizi bano balangirirwa mu lubu lw’abatukirivu.  Mu kino bategese ekitambiro ky’emisa ey’okukulemberwamu omuyambi wa ssabalabirizi mu bulabirizi bw’e KampalaBishop Cristopher Kakooza . Omu […]

Luweero- Pulezidenti Museveni alumirizza DP okubba obululu

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Pulezidenti museveni kyaddaaki avuddemu omwaasi ku byavudde e Luweero. Pulezidenti agamba nti obubbi bw’obululu bususse mu nkambi ya DP Ono agamba nti DP yatandika okubba akalulu mu mwaka gwa 1961 era nga ne Luweero yakoze ekintu kyekimu Asonze ne ku Bushenyi, Entebbe ne Kasese gy’agamba […]

Ono tawena alidde ku nyama ye n’atenda obuwoomi

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Mu nsi eno waliwo abantu nga bbo bazibu okutegeera Omusajja enzaalwa ye Norway yesazeeko ekkudde erimu n’alifumba n’alirya . Omusajja ono agambye nti enyama ye obuwoomi bwaayo bubadde nga bwa ndiga Alexander ow’emyaka , 25, ekkudde lye eliriiridde ku lumonde n’olugiraasi lwa wayini. Omusajja ono […]

Uganda ewanduse mu kuwuga n’akazito

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Uganda esigadde mu mizannyo ebiri gyokka omuli ogw’okubaka n’emisinde mu mpaka zabato eziyindira mu gwanga lya Botswana. Kiddiridde okuwanduka mu mizanyo emirala omuli Badminton n’okuwuga ng’obuzibu buvudde ku kutwaala bazannyi batawera Bo ababasi bawangudde Namibia ku bugoba 51-25 enkya ya leero. Bo ab’emisinde bakudduka olunaku […]

Yaaya omutemu wuuno

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Bungereza, omukozi eyawaayo omwana wa mukama we omulenzi nebamukozesa mu bikolwa by’obukaba esibiddwa emyaka 16 Omukyala ono Claire nga wa mu kibuga Cardiff yawaayo omwana ow’emyaka 3 eri ogusajja ogwamukozesa mu bikolwa by’okwegatta ebya buli kika omuli n’okumusiyaga Omuwala ono bino byonna […]

Bamusiga nsigo beeyongedde

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Yadde nga ebyenfuna tebitambula bulungi, bamusiga nsigo bbo beyongera bweyongezi Ekitongole ekikola ku kusikiriza bannaggagga mu ggwanga kigamba nti wakati w’omwezi gwa January ne March 2014 obukadde bwa doola 852 bwebwafunibwa okuva mu bamusiga nsigo Bino zaava ku bukadde bwa doola 403 ozakufunibwa mu kiseera […]

Aba Paakayaadi tebalina kabuyonjo

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Abaddukanya ekisaawe kye Nakivubo beeralikirivu olw’abasuubuzi mu katale ka paakayaadi obutaba na kabuyonjo Akola ku byensimbi ku Lukiiko oluddukanya ekisaawe Hajjati Miminsa Kabanda agamba nti kyewuunyisa nti abasuubuzi abasoba mu 1000 tebalina yadde kabuyonjo emu bweti Wabula yye ssentebe w’abasuubuzi mu katale Hamza Kalema bino […]

Okulongoosa Namugongo kutandise

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Ku biggwa by’abajulizi e Namugongo, okulongoosa buli wamu kutandise ng’ebula mbale ol’abajulizi lutuuke Ku kiggwa ky’aba katolika, okulongoosa ebifo ebiyitamu abantu kugenda mu maaso n’okugogola emyaala Bwana mukulu w’ekigo kye Namugongo Faaza Emmanuel Kimbowa   agamba nti olunaku Mulindwa werunatuukira ng’ekiggwa kitemagana nga mukene Faaza agamba […]

Omumuli gwa poliisi gwongedde okutambula

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Poliisi olwaleero egenze mu maaso n’okutambuza omumuli gwaayo ogwa poliisi empya nga kati gutwaaliddwa e Mukono Gusoose ku poliisi y’oku luguudo lwe Kira okudda ku kira division police nga tegunnatuuka mukono. Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutambuza omumuli, aduumira poliisi mu kampala n’emiriraanoi Andrew Felix Kaweesi agambye […]

Obulwaliro 3000 bwebwakaggalwa

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Obulwaaliro obutunda eddagala obutatukagana namutindo obusukka mu 3000 bwebwakaggalwa mu bitundu ebyesudde ekibuga Kampala. Kati buli ddwaliro erikeberebwa nga lituukagana na mutindo liteekebwaako akabonero akalaga nti lisaanidde olwo obutalina bisanyizo buggalwa. Akulira ekitongole ekikola ku by’eddagala Gordon Ssematiko agamba nti obulwaliro bungi bwakereberwa nga tebulina […]