Amawulire

Awanuse ku kizimbe

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Omusajja eyakatankidde eccupa ya bond 7 avudde ku kizimbe kya Qualicel bus terminal nebamutwaala mu ddwaliro ng’ataawa. Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omusajja ono aludde ng’alina ebirowoozo nga asiiba anywa Ate abalala bagamba nti abadde n’ebizibu ne mukyala we era nga kyekibadde kimubuzizzaako emirembe. Kabangali ya […]

Eyasomola ebyaama ayimbuddwa

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Omusirikale agambibwa okusomola ebyaama ebyaali ku butambi obwakwatibwa nga bulimu gen Kale Kaihura ayimbuddwa Ronald Poteri ayimbuddwa oluvanyuma lw’okusasula obukadde 2 ea buliwo ng’ate bboa bamweyimiridde 3 balagiddwa okusasula obukadde 10 ezitali za buliwo Omulamuzi agubadde mu mitambo Lillian Buchana era amulagidde okuwaayo paasipoota ye. […]

Bagenze “out” nga tebambadde bulawuzi

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Abakyala basatu abeekubisizza bifananyi nga tebambadde bulawuzi bafuuse ekyelolerwa Abawala bano okuli ow’emyaka 20,21 ne 20 basazeewo okugenda okwesanyusaamu nga tebambadde bulawuzi. Obwedda buli gyebayita ng’abantu bakyuuka era ng’ababakubye ebifananyi nebabissa ku mutimbagano, bagamba nti bitunda nga keeki eyokya

Ebola atuuse mu Sierraleone

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Abantu bana okuli n’omusawo kikakasiddwa nti balina obulwadde bwa Ebola mu ggwanga lya Sierraleone Obulwadde buno kigambibwa okuba nti bwavudde ku nsalo ye Guinea ng’eno abantu 145 beebakalusuulamu akaba. Tewanabbaawo ddagala lya Ebola era ng’abakugu balwana kulaba nti tebwongera kusasaana

Kkapa esaze weight

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Russia kkapa ebadade ayitiridde obuzito kyaddaaki asaze ku masavu oluvanyuma lw’okufuna akagaali k’ebadde esotta bulilunaku Abantu bangi beebabuuza engeri kkapa eno gy’ebadde esambamu akagaali naye kino ebadde ekikola eri ne mu makama waayo Oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka mukaaga, kkapa eno epimiddwa ng’esaza […]

Bakusisinkana spiika ku mukenenya

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Akakiiko akakola ku kulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya kakusisinkanamu sipiika wa palamenti ku tteeka eryakayisibwa ku mukenenya. Akulira akakiiko kano Prof Vinand Natulya agamba nti etteeka lino teryetaagisa kubanga lyakukonya olutalo ku mukenenya. Natulya agamba nti bagenda kukolagana n’ebibiina by’obwa nekyeewa ebirala okwongera okuwayaamu ne sipiika […]

Bano tebalwaala musujja

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Tanzania, abaana abatalwala musujja gwa nsiri bafuuse ekyerolerwa Bannasayansi bbo batandise okubanonyerezaako okuzuula eddagala eriyinza okugema omusjja gw’ensiri Abanonyereza bano bazudde nti abaana bano balina abasirikale abalwanyisa omusujja gwonna oguyinza okubakwata. Kati babakubye empiso okubajjamu abasirikale bano bebakubye mu mmese zebakozesa okunonyereza […]

Okulya ekiro bulwadde

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Abantu bangi tebasobola kwebaka nga tebalidde era nga beekyuusiza mu buliri okutuuka lwebafuna kyebalya. Abamu bakiyita kya lusaago naye nga buno bulwadde bwenyini. Abasawo bagamba nti kino kiva ku Muntu obutaba na butoffaali obuyamba okutebenkeza omubiri nga teguliimu mmere. Okunonyereza okukakasizza bino kukoleddwa ku mmese. […]

Abadde yeeyita Paasita akwatiddwa

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Poliisi ye Wandegeya ekutte omusajja abadde yeeyita paasita n’afera ssente okuva mu bagabi b’obuyambi n’okusobya ku bawala.. Cyrus Muwaire nga mutuuze we  Kyebando Nsooba abadde asiibya abaana bajja ku nguudo enjalah era nga babadde tebasoma nga bw’abadde agamba abamu ku bazadde b’abaana bano. Mu kiseera […]

Poliisi yakukwata abagaba enguzi

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Nga poliisi yakuno ekuza emyaka 100 nga eweereza eggwanga,Ssabawolereza w’eggwanga  General Kale Kayihura aweze nga bwebagudde olutalo ku bantu ba bulijjo abawa basajja be enguzi. Kayihura agamba obuli bw’enguzi bwebuba bwakulwanyisibwa, abantu baabulijjo abagaba ekyoja mumiro eri abasirikale ba poliisi balina okukwatibwa kubanga ogwo musango. […]