Amawulire

Abajulizi- emyaka kati 50 nga nga bafuuliddwa abatuukirivu

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

KKanisa ya Uganda olwaleero ejje akawuuwo  ku mulimu gw’okuzimba ekifo omugenda okuterekebwa ebyafaayo ku bajulizi. Ssabasumba wa kkanisa ya Uganda Stanley Ntagali agamba nti abajulizi kyafaayo kya maanyi ekikungaanya ebantu okuva e bule ne bweeya kale nga buli ekibakwatako kikulu Omusumba Ntagali era agamba nti […]

Omulambo bagutonye

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Omulambo gw’omukyala eyafudde ng’aweza emyaka 80 ab’enganda ze basazeewo kumutuuza mu katebe k’abadde asinga okwagala. Omulambo gw’omukyala  ono gwambazidddwa olugoye lw’embaga omugenzi gweyayambala ku mbaga ye eyokubiri. Gwambaziddwa n’enkofiira olwo negwetoloozebwa ebimuli omugenz by’abadde asinga okwagaala Muwala w’omukyala ono agambye nti takubangako kafananyi nga nyina […]

Uganda cranes- Moses Oloya atuuse

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Omuzanyi Moses Oloya okuva e Vietnam, atuuse munkambi ya Cranes emisana ga leero nga team ye gwanga yetegekera omupiira ogw’okudingana ne Madagascar ku lwomukaaga lwa week eno e Namboole. Akulira ebyamawulire munkambi ya Cranes Katende Malibu ategezezza nti abazanyi bali mumbeera nungi era balindiridde captain […]

Abasinga bazize okulonda mu misiri

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Misiri abakulembeze batubidde n’okulonda kwebategeka ng’abantu bagaanye okukujjumbira Okulonda kuno kwabadde kwa nnaku bbiri kyokka nga kwayongezeddwaayo okutuuka ku lw’okusatu naye ng’era teri bajjumbidde Gavumenti y’amaggye efuga eggwanga lino olunaku lwajjo era yalulangiridde ng’olw’okuwummula okusikiriza abantu okulonda kyokka nga bino byonna tebiyambye. […]

Obuyonjo eri abakyala abali mu nsonga kikulu

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Olwaleero Uganda yeegasse ku ku nsi yonna okukuza olunaku lw’obuyonjo olwabawala abali mu nsonga. Olunaku luno lugendereddwamu kugonjoola bizibu abakyaala n’abawala byebayitamu nga bali mu nnaku zaabwe. Mu mwaka gwa  2012, ekibiina okuva mu ggwanga lya Budaaki ekya  Netherlands Development Organisation kyakola okunonyereza nekizuula nti […]

Munnamawulire Herbert Zziwa aguddewo omusango

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Munnamawulire waffe eyakubwa ng’akola amawulire ge Luweero mu butongole agguddewo omusawo ku poliisi ye Luweero n’oluvanyuma akube poliisi mu mbuga z’amateeka Zziwa yakubwa batuuni ku mutwe yadde nga yafuba okulajaana nti yali munnamawulire E Luweero awerekeddwaak ab’ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire aba Human Rights Network […]

Ebyobufuzi byebisse NAADS

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Eky’enkola ya NAADS obutavaamu bibala bigisuubirwaamu kissiddwa ku by’obufuzi ebigibaddemu Olunaku lwajjo pulezidenti museveni yalagidde nti enteekateeka eno esazibweemu kubanga teyambye bantu kwejja mu bwavu. Omubaka wa municipaali ye Rukungiri  Roland Mugume agamba nti enteekateeka eno tebadde mbi wabula ng’ejuddemu eby’obufuzi kale nga teyinza kuyamba […]

Okuwandiika abafuna densite kugenda kutuuka mu kiro

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Mu kawefube ow’okwanguyiza abantu omulimu gw’okwewandiisa okufuna endagamuntu, gavumenti yakutandika okuwandiika abantu ekiro. Bino byogedde minista ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima bw’abadde aggulawo omusomo gw’ennaku 2 eri abamu ku bakola omulimu gw’okufuna endagamuntu. Nyakairima alaze bwenyamivu nti bukyanga kuwandiisa kutandika mu […]

Omujaasi eyatta abantu e Luzira afunye ku buweerero

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Kkooti y’amaggye ekendeezezza ekibonerezo eri omujaasi eyakuba amasasi mu bantu e Luzira n’attamu basatu. Herbert Rwakihembo yali yasalirwa emyaka 30 kyokka nga bamusaliddeko wakati nga kati wakusibwa emyaka 15. Abatuula ku kkooti eno nga bakulirwa Brig Ddiba Ssentongo bagamba nti emyaka 30 egyaweebwa Rwakihembo gyaali […]

ababiri bafiiridde mu kabenje

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Wano mu industrial area Poliisi ekubye amasasi mu bbanga okugumbulula abagoba ba bodaboda, nga bano babadde  beesomye okugajambula omuvuzi w’ekimotoka kya bulekedawuni atomedde  banaabwe 2 n’abatta Ekimotoka kino number UVV 599 kiyingiridde bodaboda ezibadde zitambula agaazo,ekiggye abagoba ba bodaboda abalala mu mbeera nebaagala okukuba abadde […]