Amawulire

Omujaasi eyatta abantu e Luzira afunye ku buweerero

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Luzira prison

Kkooti y’amaggye ekendeezezza ekibonerezo eri omujaasi eyakuba amasasi mu bantu e Luzira n’attamu basatu.

Herbert Rwakihembo yali yasalirwa emyaka 30 kyokka nga bamusaliddeko wakati nga kati wakusibwa emyaka 15.

Abatuula ku kkooti eno nga bakulirwa Brig Ddiba Ssentongo bagamba nti emyaka 30 egyaweebwa Rwakihembo gyaali mingi nnyo okuva lwekiri nti gwegwaali omulundi gwe ogusoose okuzza omusango gwa naggomola.

Kkooti era egambye nti Rwakihembo yandibadde avunaanibwa misango gya kulumya bantu sso ssi ttemu nga bwekyakolebwa

Wabula Brig. Ddiba agambye nti tebasobola kuyimbula Rwakihembo kubanga mujaasi omutendeke eyali asuubirwa okufuga obusungu yadde nga yali acokoozeddwa.