Amawulire

Enkayaana za Taxi zizzeemu

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Enkaayana za sitegi mu paaka enkadde zisitudde buto.  Kino kiddiridde aba KCCA okwongera okusengula siteezi endala okuva mu paaka enkadde okudda mu mpya. Kati bbo abagoba ba taxi ku siteegi ye Bwaise Nabweru baweze nti kikafuuwe okwamuka paaka enkadde era baasazewo kukuuma siteegi yaabwe kiro […]

Emotoka z’abalwadde tewali

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

Obuzibu bw’emmotoka ezitambuza abalwadde e Pallisa butandise okweralikiriza abakulembeze mu kitundu kino. Abalwadde bangi naddala abakyala b’embuto batindigga engendo okutuuka mu malwaliro nga n’oluusi bafuna ebizibu. Omubaka akiikirira abantu be Pallisa, Jacob opolot agamba nti abantu bangi y’ensonga lwaki beepena amalwaliro nebadukira mu basawo b’ekinnansi. […]

Omulambo mu nju

Ali Mivule

May 23rd, 2014

No comments

Poliisi e Mbuya eriko omulambo gw’omusajja gw’esanze nga guggaliddwa mu nyumba Omugenzi abadde mukuumu ng’ategerekese nga Moses Oguchi Omulambo gw’omusajja ono wabula tegusangiddwaako bitundu bya kyama era nga gugalamidde mu kitaba ky’omusaayi. Allan Kagenyi nga ofiisa ku poliisi e Mbuya agamba nti omugenzi wabula n’obutakkaanya […]

Babbye Ebirabo Mu Kanisa

Ali Mivule

May 23rd, 2014

No comments

Poliisi e Masaka eri ku muyiggo gw’ababbi abamenye e kanisa ya  St. John’s Church nebabba ebintu ebibalirwamu obukadde obusukka mu15.  Okusinziira ku akulira e Kanisa eno   Rev. Canon Gaster Nsereko, ababbi bamenye  ofiisi ye ne babba kompyuta, emizindaalo gyebakozesa ku mikolo saako n’ebirabo ebiwebwayo  abasabira […]

Abavubisa Obutwa Bakwatiddwa

Ali Mivule

May 23rd, 2014

No comments

Poliisi ekutte abavubi abasoba mu 30 lwakuvubisa butwa. Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ku bizinga bye Mpaga mu district ye Namayingo.  Omubaka wa Pulezidenti mu kitundu kino Mpimbaza Hashaka agamba baataddewo dda akakiiko okuyigga abo bonna abavuba mungeri etali mu mateeka.

Abazadde Balabuddwa obutafumbiza Batanetuuka

Ali Mivule

May 23rd, 2014

No comments

  Nga Uganda yegasse kunsi yonna okukuza olunaku lw’obulwadde bw’okutonya mu bakyaala, abazadde baweereddwa amagezi okwewala okufumbiza  bawala baabwe nga tebanetuuka. Okusinziira ku kunonyereza kw’ebyobulamu okwakolebwa mu 2011,omuwala omu ku bana  wakati w’emyaka 15 ne 19 wano mu ggwanga aba lubuto n’omwana we asooka nga […]

Nabukenya azzeeyo mu palamenti

Ali Mivule

May 23rd, 2014

No comments

Munna DP Brenda Nabukenya awangudde akalulu k’omubaka omukyala owe Luweero. Nabukenya awangudde munne bwebabadde basing okubeera ku mbiranye. Nabukenya afunye obululu 38,582 ate Nalwanga n’afuna obululu 22,236. Faridah Namubiru afunye obululu 717 ate Ramula Kadala n’afuna obululu 758. Omuwanguzi alangiriddwa akulira eby’okulonda e Luweero, alex […]

Omuzadde ayiiya

Ali Mivule

May 22nd, 2014

No comments

  Abakyala bagaala nnyo okulaba abaana baabwe nga bazannya nga kweekwava enjogera egamba nti omwana azannya lyessanyu ly’omuzadde. Wabula yye omukyala ono asusse bw’ayiyiiza amadaala g’ekizimbe kye negafuuka gogolo. Kuno abaana kwebasiiba nga beewuubira era nga tebakyakaaba kuwalampa madaala.  

Parambot eggaddwa

Ali Mivule

May 22nd, 2014

No comments

Ekitongole ekiwooza olwaleero kigadde kkampuni ensogozi y’omwenge eya Parambot Breweries. KKampuni esangibwa Kitetikka ku lwe Gayaza Bano bagamba nti kkampuni eno egibanjibwa emisolo egisoba mu buwumbi 2 era nga baludde nga bababanja naye nga tebekyuusa. Allan Ssempebwa nga ono yakulembeddemu ekikwekweto kino, atubuulide nti bano bamaze ebbanga […]

Nabukenya ne Nalwanga bamaze okulonda- akavuyo katandise

Ali Mivule

May 22nd, 2014

No comments

Munna DP Brenda Nabukenya ne munna NRM Rebecca Nalwanga bamaze okulonda.   Bano balondedde mu kifo kimu ekya St Jude era wano beesiseeko mu mikono.Nabukenya wabula agamba nti atidde olw’enkalala ezitategerekeka ate nga yye Nalwanga agamba nti abalonzi abamu obutaba ku nkalala kimweralikirizza.Ab’akakiiko akalondesa ne […]