Amawulire

Abavuganya bavuddeyo omwaasi ku bya Museveni okwesimbawo yekka

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

Abali ku ludda oluvuganya gavumenti batandise okwekengera eby’okuyisaamu pulezidenti Museveni nga tavuganyiziddwa Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye agamba nti kuno kuziyiza nkola eya domokulasiya Nn’ayogerako eri bannakasangati, Besigye agambye nti bagenda kwekolamu omulimu okulaba nti kino tekikola kubanga nabo kibatwaliramu Ababaka mu […]

Amasiro gasenvudde

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akakasiza Obuganda Masiro g’ekasubi bwegagenda okuteekebwako amataala okusobola okwetangira abantu ab’emitima emibi. Katikiro okwongera bino abadde mu masiro e Kasubi ng’alambuza obuganda omulimu gw’okuzimba enyumba ya muzibu azaala mpanga. Katikkiro agambye nti amataala agasoba mu 300 geegagenda okuteekebwa ku […]

Abaana bano tebalidde bitooke byebigwa

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

Mu ggwanga la Colombia, abaana ababiri abasinga obunene babafunidde abakugu mu kusala amasavu Santiago Mendoza ne Isabela Caicedo balongo ng aba myezi mukaaga gyokka. Baana waabwe yeyabatwaala mu kifo ekigaba obuyambi nga bamulemereredde mu byendiisa. Ku myezi mukaaga abaana bano bazitowa kilo ezisoba mu 30 […]

Ab’ebikonde bagaala ssente

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

Ekibiina ekitwala omuzannyo gw’ebikonde mu ggwanga kinoonya nsimbi nga kyetegekerea empaka za babinyweera omwezi ogujja Omwogezi w’ekibiina kino Fred Kavuma agamba nti beetaaga ensimbi enkalu, emmere, amazzi n’ebikozesebwa mu kutendeka Ono agamba nti balindiridde obuyambi bwonna okuva mu gavumenti nebannakyewa okusobola okuyamba tiimu y’eggwanga eya […]

Aba Kkolera 53 basiibuddwa

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

  Abantu abalina obulwadde bwa cholera abawerea ddala 49 beebakyaali mu ddwaliro nga bajjanjabibwa Kino kikakasiddwa kamisona akola ku byobulamu mu bitundu ebitali bimu Dr Anthony Mbonye Dr Mbonye agamba nti minisitule y’ebyobulamu efubye okulaba nti obulwadde buno tebwongera kubuna era nga tewanabaawo muntu mulala […]

Pulezidenti asuubizza okutunula mu by’emisaala

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni ategeezezza nga bw’ali omwetegefu okusisinkana abakulembeze b’abakozi ku nsonga y’omusaala ogusookerwaako Bw’abadde ayogerera ku mikolo gy’abakozi mu disitulikiti ye Ntungamo, pulezidenti akkirizza nti kitono ky’amanyi ku nsonga eno era nga yetaaga kwongera kukakasibwa ku nsonga eno. Wabula pulezidenti alumbye abakozi abagayaavu n’abatali besimbu […]

Mgeme abaana

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

Abazadde bawereddwa amagezi okutwala abaana baabwe bagemebwe ekirwadde kya pneumonia  kubanga kati amalwaliro gonna mu kampala kati eddagala erigema obulwadde buno galirina. Akulira eby’obujanjabi obwabulijjo  Doctor Ruth Aceng agamba nti abaana 14 kubuli kikumi wano mu kampala balwala pneumonia buli mwaka. Wabula agamba nti kino […]

Omukyala agumbye ku poliisi

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

Waliwo omukyala ow’emyaka 23 agumbye ku poliisi ye Kira nga ayagala ayawukane ne bba gwalumiriza okubeera omwenzi. Rose Nakku nga mutuuze we Kamwokya asazewo okugumba ku poliisi eno okutuusa nga ekitongole kya poliisi ekikola ku nsonga z’amaka kimuwadde ebbaluwa emwawukanya ne bba ono omuvuzi wa […]

Lunaku lw’abakozi- abavubuka beekalakaasizza

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

Nga eggwanga likuza olunaku lw’abakozi ,bbo abavubuka besambye eby’okulukuza nga bagamba ssibamativu n’engeri ebintu gyebitambulamu mu ggwanga. Bano nga bava mu kibiina kya NRM n;aboludda oluvuganya gavumenti bagamba nti banji tebalina mirimu yadde nga baasoma kale nga tebalaba nsonga lwaki bakuza olunaku lw’abakozi nga bbo […]

Eyali omubaka Kipoi akadde konna akomezebwaawo

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

  Gavumenti enatera okumaliriza entekateka z’okuzza ku butaka eyali omubaka we Bubulo ey’obugwanjuba Tony Kipoi eyakwatibwa mu ggwanga lya congo avunanibwe mu kooti y’amaggye emisango gy’okulya munsi ye olukwe. Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu  by Capt. Fredrick Kangwamu  lutegezezza kooti y’amaggye e Makindye ekubirizibwa  Brig. Moses […]