Amawulire

Eyali omubaka Kipoi akadde konna akomezebwaawo

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

 kipoi

Gavumenti enatera okumaliriza entekateka z’okuzza ku butaka eyali omubaka we Bubulo ey’obugwanjuba Tony Kipoi eyakwatibwa mu ggwanga lya congo avunanibwe mu kooti y’amaggye emisango gy’okulya munsi ye olukwe.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu  by Capt. Fredrick Kangwamu  lutegezezza kooti y’amaggye e Makindye ekubirizibwa  Brig. Moses Ddiba Ssentongo  nti abanonyereza ku musango guno essawa yonna Kipoi bakumuwayo eri kooti avunanibwe.

Kipoi avunanibwa n’abajaasi ba UPDF abalala 5 nga bbo babadde ku alimanda okuli : Sgt. Albino Okeng, Sgt. Yunus Lemeliga, Lance Corporal Rogers Mweru, Lance Corporal Adams K. Mwaka ne Private Ijosiga Dodola.

Kipoi avunanibwa kugezaako kuvunika gavumenti.