Amawulire

Owa NRM awandiisiddwa

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

Agava e Luweero leero abeesimbyewo 2 bamaze okusunsulwamu ku kifo ky’omubaka anakiikiriria Luweero mu palamenti.  Kuno kuliko munna NRM Rebecca Nalwanga n’eyesimbyewo ku bwanamunigina Farida Namubiru kko ne Brenda Nabukenya eyasunsuddwa gyo Jotham Taremwa ayogererea akakiiko ke by’okulonda atubuulide enteekateeka zonna zigenda mu maaso , […]

Katikkiro ali ssingo

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga akunze obuganda okwongera okunyweera, okusobola okutwala eggwnaga mu maaso. Bw’abadde ayogerera ku gombolola ye Bulera gy’asokedde ku lugendo lwe mu ssaza lye Ssingo, Mayiga agambye nti okuzza Buganda ku ntikko mulimu munene , kale nga abaganda balina okwekwanya, okulaba […]

Poliiyo wa bulabe

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

Ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulambu kirangiridde nti obulwadde bwa poliyo obutabuse ennaku zino bugenda kussa ebyobulamu ku katyabaga era ng’ekya mangu kirina okukolebwa Kiddiridde obulwadde buno okubalukawo mu mawanga agatali gamu ku ssemazinga wa Asia, Africa ne mu kyondo ky’amawanga ga buwarabu. Ekibiina kino […]

Obulwadde bw’omutima bweyongedde mu baana

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

Abaana abasoba mu mutwaalo gumu mu kakaaga beebazaalibwa n’obulwadde bw’omutima buli mwaka Amyuka akulira eddwaliro lino Dr Peter Lwabi agamba nti ku baana bano ebitundu 60 ku kikumi beebalongoosebwa buli mwaka abalala nebasigala olw’ebbula ly’ensimbi. Dr lwabi agamba nti abaana abali mu 8000 beebalina okulongoosebwa […]

Abakyala 33 beebafa buli ssaawa nga bazaala

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

Abakyala 33 okwetoloola ensi yonna beebafa nga bazaala. Ab’ekibiina ky’ensi ekikola ku byobulamu bagamba nti yadde wabaddewo okukendeera mu muwendo , tekyeyagaza kubanga 33 bakyala bangi nnyo okufa mu ssaawa emu. Emiwendo gino egifulumiziddwa ekibiina kino era gireese obujulizi obuggya ku biki ebivaako abakyaala okufiira […]

Omubbi asumagiiridde ku mulimu

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

Ono omubbi alabika ebintu abadde yakabitandika Omusajja ono agenze okubba emmotoka wabula otulo netumubbira ku mulimu guno Nanyini motoka akedde okugenda mu motoka asimbule okukola asanze omusajja ono ali mu kufuluuta Omusajja ono yetonze n’ategeeza nga bweyatamidde ate nga tasigazza zantambula naye bw’atyo kwekusalawo okubba […]

Ttiyagaasi e Luweero

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala mu bawagizi b’ekibiina kya DP ababadde bagoberera omuntu waabwe Brenda Nabukenya ngava okuwandiisibwa. Nabukenya abadde akulembeddemu abantu be nga bayita mu katale ka mubuulo poliisi ky’egambye nti kimenya mateeka Akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu yye agusalidde poliisi ky’alumiriza […]

Amateeka ku baasi ezigenda e Kenya

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

Abavuga baasi ezigenda e Kenya bassiddwaako amateeka amakakali. Kiddiridde obulumbaganyi bwakoleddwa ku Kenya mu kibuga ekikulu Nairobi abantu 4 bamale bafe. Akulira ekibiina kya ba dereeva ba baasi, David Bahati agamba nti balagiddwa okwekebejja enyo emigugu n’abantu benyini okulaba nti tewabaawo buzibu bwonna Wabula amateeka […]

Omusajja yattidde e Mulago

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

  Omusajja atanategerekeka yekasuse okuva ku mwaliriro ogwomukaaga neyekata wansi nafiirawo  wali ku ddwaliro ekkulu e Mulago. Akulira poliisi ye Mulago Hashim Kasinga agamba tekinategerekeka oba ono abadde mulwadde oba mugenyi mu ddwaliro lino.

Okusunsula abe Luweero kutandise

Ali Mivule

May 5th, 2014

No comments

  Akakiiko k’ebyokulonda olunaku olwaleero katandise okunsusula okwennaku ebbiri okwabo abagenda okwesimbawo ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Luwero. Akulira eby’okulonda mu district eno  Alex Komuhangi agamba abantu 8 bebagyayo foomu z’okwesimbawo nga kwekulu neyagobwa mu kifo kino Brenda Nabukenya. Komuhangi agamba kampeyini zakutandika nga 7 […]