Ebyemizannyo

Cranes etandise okutendeka

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Team y’eggwanga eya Cranes etandise okutendeka  akawungeezi ka leero mukisaawe e’ Namboole nga yetegekera empaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja. Mujib Kasule akulira ebyekikugu mu Fufa ategezezza nga team bwesuubirwa okusitula nga 16th week ejja okugenda e Madagascar gyegenda okusamba omupiira ne team yegwanga […]

Akabenje e Masaka- omu afudde

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Omuntu omu y’afiiriddewo mu kabenje akabadde e Nyendo Masaka. Omugenz ategerekeseeko lya Richard ng’abadde asala kkubo ku ssundiro lya TOTAL ku luguudo oludda e Mbarara. Emmotoka ekoonye omusajja ono kika kya Premio naye nga tetegerekese namba. Aduumira poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka e Masaka, James […]

Teri kusengula ba paakayaadi

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Omubaka wa pulezidenti mu kampala, Aisha Kabanda ayimirizza eby’okugoba abasuubuzi abakolera okumpi n’ekisaawe kye Nakivubo. Abasuubuzi bano babadde balwanagana n’abaddukanya ekisaawe era nga n’abamu baamaze okusengulwa Kabanda agamba nti kino kirina okukoma okutuusa ng’enjuuyi zonna zikkanyizza. Bbo abasuubuzi abasoba mu 100 e Seeta Mukono batiisizzatiisizza […]

Abakyala abafa- buli omu ayambeko

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Minisitule y’ebyobulamu egamba nti okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya kisoboka ssinga buli omu akwatiza waali. Omwogezi wa minisitule Rukia Nakamatte agamba nti nebwebanassa eddagala mu ddwaliro naye ng’abakyala bangi tebagenda mu malwaliro kuba kumala biseera. Nakamatte agamba nti abakyala abasinga okufa nga bazaala baba […]

Ekikere mu kyenyanja

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Omusajja akutte ekyenyanja n’amaddu g’okukirya kimuweddeko bw’asanze nga kirina akakere mu mutwe Akakere kano kabadde kalamu tteke  

Nigeria ettaddewo ekirabo eri abamanyi abawala gyebali

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Poliisi mu ggwanga lya Nigeria etaddewo emitwaalo gya doola emitwaalo 30 eri omuntu anabatuusa awali abawala b’essomero abawambibwa. Abawala bano abasoba mu 200 bawambibwa ssabiiti ssatu emabega okuva ku ssomero ly’ekisulo erisangibwa mu kibuga Borno. Abawala abalala 11 bawambiddwa okuva ku byaalo 2 ebyalumbiddwa abagambibwa […]

Asinga obuwanvu agenda mu bufumbo

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Omuwala asinga obuwanvu mu ggwanga lya Brazil abugaanye essanyu muganzi we bw’amusabye amufumbirwe Omuwala ono ayagala okubeera model nga Elisany da Cruz Silva – ng’alina fuuti mukaaga ne inch munaana abadde ali n’omusajja ono owa fuuti ettaano Katie myaka esatu Ekyewunyisizza nti omusajja ono yadde […]

Obuwumbi 10 okusattulula obujagalalo mu myezi 3

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bakunyizza senkaggale wa Poliisi Gen Kale Kaihura olw’ensimbi ezissibwa mu kukkakkanya abeekalakaasa Kiddiridde ababaka okutegeezebwa nga poliisi bweyakozesa obuwumbi 10 mu kusattulula abeekalakaasi okuva mu mwezi gw’omusanvu okutuuka mu gw’omwenda omwaka oguwedde. beebuzizza ku buwumbi 10 poliisi z’egamba nti yakozesa […]

Omukyala abadde aweese agudde

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

  Omukyala abadde aweese omwana ku mugongo aseredde okuva ku Kasozi waggulu n’agwa wansi omwana n’afiirawo. Ono akasozi k’abaddeko kali kumpi n’enyanja Albert Omukyala ono ategerekese nga Daphine Twinamasiko abadde yettisse emmere ku muwe kyokka nga bw’aweese n’omwana ow’omwana ow’omwaka ogumu Omwana ono kigambibwa okuba […]

Kaihura awaabiddwa lwa butambi

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura akubiddwa mu mbuga z’amateeka ku bigambibwa nti yeeyingiza mu nsonga za Kibiina kya NRM. Munnakibiina kya NRM Rodgers Besigye,ayagala ebikolwa bya Gen Kaihura binonyerezebwaako era abonerezebwe. Besigye agamba nti mu mwezi gw’okuna, Kaihura aliko omuvubuka wa NRM Alex Kasirivu […]