Amawulire

Kaihura awaabiddwa lwa butambi

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Kaihura again

Senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura akubiddwa mu mbuga z’amateeka ku bigambibwa nti yeeyingiza mu nsonga za Kibiina kya NRM.

Munnakibiina kya NRM Rodgers Besigye,ayagala ebikolwa bya Gen Kaihura binonyerezebwaako era abonerezebwe.

Besigye agamba nti mu mwezi gw’okuna, Kaihura aliko omuvubuka wa NRM Alex Kasirivu gweyakunya lwakuwagira ssabaminista Amama Mbabazi ate nga mukozi wa gavumenti atalina kwenyigira mu byabufuzi byawula mu bantu.

Ono era agamba nti Kaihura ebigambo byeyayogerera e Kayunga nti muwagizi wa pulezidenti museveni nabo bikyaamu

Besigye ayagala kkooti erangirire nti ebikolwa bya Kaihura bimenya mateeka era tebigya mu kitiibwa kya ssabapoliisi.