Amawulire

Omukyala abadde aweese agudde

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

 

Woman carrying baby on the back

Omukyala abadde aweese omwana ku mugongo aseredde okuva ku Kasozi waggulu n’agwa wansi omwana n’afiirawo.

Ono akasozi k’abaddeko kali kumpi n’enyanja Albert

Omukyala ono ategerekese nga Daphine Twinamasiko abadde yettisse emmere ku muwe kyokka nga bw’aweese n’omwana ow’omwana ow’omwaka ogumu

Omwana ono kigambibwa okuba nti agudde ku jjinja erimusse

Twinamatsiko ono ali ku kitanda ajjanjabwa naye ng’embeera ye ssi nnungi n’akatono.

Ebyo nga biri bityo,

Omwana owa wiiki emu esirikidde mu muliro ogukutte enyumba mw’abadde yeebase

Omwana ono kigambibwa nti bakadde be baamulese mu nju ne magandawe ow’emyaka omusanvu nebagenda okulima .

Ayogerera poliisi mu buvanjuba bw’eggwanga Dina Nandawula atubuulide nti omuliro ogusse omwana ono gwandiba nga guvudde ku kasubbaawa akaleddwa mu nju.