Amawulire

Abavuganya bavuddeyo omwaasi ku bya Museveni okwesimbawo yekka

Ali Mivule

May 1st, 2014

No comments

Besigye and youths

Abali ku ludda oluvuganya gavumenti batandise okwekengera eby’okuyisaamu pulezidenti Museveni nga tavuganyiziddwa

Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye agamba nti kuno kuziyiza nkola eya domokulasiya

Nn’ayogerako eri bannakasangati, Besigye agambye nti bagenda kwekolamu omulimu okulaba nti kino tekikola kubanga nabo kibatwaliramu

Ababaka mu NRM batandika kawefube w’okuyigga obuwagizi ku kiteeso kyaabwe nti Pulezidenti musveni aleme kuvuganyizibwa muntu yenna kuva mu kibiina kye mu mwaka 2016.