Amawulire

E Luweero Kulonda

Ali Mivule

May 22nd, 2014

No comments

  Okuddamu okulonda omubaka omukyala mu district ye Luweero kutandise namiuyo mu bitundu ebimu. Kino kiddiridde abamu ku balonzi okusanga nga amanya gaabwe tegali ku nkalala z’abalonzi. Olwokaano mulimu abantu bana okuli munnaDP  Brenda Nabukenya, Munna NRM  Rebecca Nalwanga n’abesimbyewo kulwabwe okuli  Faridah Namubiru ne […]

Emisinde gya Akiibua

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Poliisi etegeezeza nga bw’emazze okwetegekera obulungi emisinde egigenda okubaawo ku  lunaku olwa Sunday, nga gino gyeginaweerekera ebikujukko bya poliisi okuwezza emyaka 100. Gino emisinde gigenda kugulwaawo sipiika wa palament y’eggwanga , era nga gitambulidde ku mulamwa ogw’okusonda ensimbi ez’okuymba abaayirwa acid. Ayogerera poliisi mu kampala […]

Omupiira gwa Madagascar- Tikiti zituuka lwa kutaano

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Tikiti z’omupiira  gwa Uganda Cranes ne Madagascar ogwokudingana zakutandika okutundibwa kulwokutaano lwa week eno. Tickets zino ziri kumitwalo shs 20,000 ,shs 50,000 wamu ne shs 150,000 ezekikungu. Akulira ebyensimbi mu Fufa Decolas Kiiza akubiriza bana’Uganda okugula tickets zino mubifo byoka Fufa byetaddewo. Uganda egenda kuzanya […]

Omukyala asse omwana we

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Omukyala asse omwana we lwakugaana kwooza bintu Anifa Adeke nga wa myaka 25 mutuuze we Kyaliwajjala ng’omwana we gw’asse ye Erina Namboozo. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti omukyala ono bamaze okumukwata era ng’agenda kuggulwaako misango gya ttemu

Bakazi baggya abalwaanye bakaligiddwa

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Kkooti eriko bakazi baggya babiri beevunaanye lwa kulwanira musajja Abakazi bano okuli Justine Nantume ne Florence Jaruwa basimbidwa mu maaso g’omulamuzi w’edaala  erisooka ku kkooti ya city hall Erias Kakooza. Emisango gino tebagyegaanye Bano kkooti ebasingisizza emisango era buli omu n’emulagira okukola bulungi bwansi okumala […]

Poliisi yetegekedde Luweero

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Ng’ebula ssaawa ntono abe Luweero balonde omubaka omukyala omuggya, abatunuulizi b’eby’okulonda basabiddwa obutasukka webalina kukoma Ebibiina bingi bitaddewo abatunuulizi b’eby’okulonda nga n’abamu baavudde wano kampala Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Luweero, Lameck Kigozi agamba nti tebagenda kugaana Muntu yenna kulondoola kulonda kati anagoberera amateeka […]

Emotoka emulumbye mu kidiba kya mazzi

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Russia,Omukyala abadde awuga, essanyu limuweddeko emmotoka bw’ematuse waggulu n’egwa mu kidiba ekizungu mw’abadde. Ekidiba kye kiri mabega w’ekizimbe gaggadde nga kino emanju wasimba emmotoka. Abadde avuga emmotoka eno emulemye okusiba okukkakkana ng’eyiseewo okutuuka mu puulu. Omukyala ono azirikiddewo kyokka ng’abadde agivuga y’adduse […]

Bano gubatikkidde mu yafeesi

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Mu ggwanga lya Italy, omulamuzi abadde awulira omusango aguyimirizza bw’alengedde abagalana babiri nga bali mu kigwo gwa mukwano okuliraana kkooti gy’abadde akubiriza. Omulamuzi ono Anna Ivaldi asabye munnamateeka w’oludda oluwaabi abadde ayogera okusooka okuyimiriza kubanga abadde awulira amaloboozi agatategereka. Omulamuzi ono atambuzizza amaaso era agasudde […]

Abalongo bano bagabana buli kimu

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Kakati bbyo ebyewunyisa tebiggwa mu nsi. Mu ggwanga lya America, mu kibuga Los Angeles ,waliwo abalongo abagabana buli kimu. Bano bagabana bingi omuli omukutu gwa facebook, essimu, engoye na buli kimu Ekisinga okwewunyisa nti n’omusajja balina omu ate nga tebamulwanira

Bbomu zisse abantu 17 mu Nigeria

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Obulumbaganyi obulala obukoleddwa mu ggwanga lya Nigeria bulese abantu 17 nga bafudde Kino kibaddde ku kyaalo Alargano  mu bukiikakkono bwa Nigeria nga kino kiri kumpi n’ekyo ekyawambibwaako abawala abasoba mu 200. Obulumbaganyi buno buzze ng’obulumbaganyi obulala mu kibuga Jos bwakatta abantu 118. Mu bulumbaganyi buno […]