Amawulire

AKabenje katuze 2

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akagudde e Mbiriizi ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Ekimotoka ekisomba amata No. UAU 474B kiyingiridde motoka ntono kika kya Mark 2 No.UAN 161N Omogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjogi agambye nti mu bafudde mwemubadde omusuubuzi […]

Eyali muganzi w’omubaka ajulidde

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Kooti ye Makindye olunaku olwaleero etandise okuwulira okujulira kwa Adam Sulaiman Kalungi nga ono ye yali muganzi w’omugenzi Cerina Nebanda eyali omubaka w’eButalejja. Kalungi awakanya ensala y’omulamuzi Esther Nambayo eyamusiba emyaka 4. Munnamateeka wa Kalungi Evan Ocheng agamba  omulamuzi yemalira ku bujulizi bw’oludda oluwaabi obwabwe […]

Mubaraka gumusse mu vvi

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Kooti mu ggwanga lya Misiri esindise eyali omukulembeze w’eggwanga lino Hosni Mubaraka mu kkomera yebakeyo emyaka  3. Kiddiridde ono okusingisibwa  emisango gy’okubulankanya ensimbi y’omuwi w’omusolo. Bbo batabani be ababiri okuli , Alaa ne  Gamal, bbo basibiddwa emyaka 4. Oludda oluwaabi lugamba bano bemolera obukadde bwa […]

Ettofaali liri mitala wa Mayanja

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olunaku olwalero wakubitekamu engatto ayolekere ekibuga Dubai mu United Arab Emirates okukunganya ettafaali eryokukulakulanya Obuganda. Omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi agambye nti Katikiro wakumala enaku 3 e Dubai era ngawakusisinkana Abaganda abasoba mu 7000. Walusimbi agambye nti Katikiro era […]

Akasattiro e Makerere- abatujju bagaala kuyita mu bayizi

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Poliisi ekyakunya abamu ku bayizi b’ettendekero lye Makerere oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo omuyizi eyasuubiziddwa obukadde 15 abantu abatanategerekeka singa asuula ekitereke kya bbomu ku ttendekero ly’ebyakompyuta. Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Polly Namaye agamba baakunyizza dda abamu ku bayizi era balina webatuuse. Byo […]

Bukenya wakwesimba ku Museveni

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga  Gilbert Bukenya akinaguse nti teyejusa kunonyeza munna Dp  Brenda Nabukenya kalulu mu district ye Luweero. Bukenya yakubidde Nabukenya kakuyege  e  Luweero era nategeeza nga Nabukenya bwali omuntu omutuufu okuleetawo enkyukakyuka mu district eno. Bukenya agamba Nabukenya Mukyala alengerera ewala, ate nga […]

Abasawo beediimye e Kamuli

Ali Mivule

May 20th, 2014

No comments

Abasawo mu district ye Kamuli bediimye. Bano bemulugunya kumala myezi 2 nga tebalaba mu musaala. RDC Herman ssentongo yazze n’abamu ku bakulira eby’obulamu mu district eno mu kampala okulaba lwaki n’okutuusa kati abasawo tebanasasulwa. Ku ddwaliro ekkulu abasinga bekolera gyabwe awatali kukwata ku mulwadde.

Kokoolo w’abasajja yandiba ng’ava mu kwerigomba

Ali Mivule

May 20th, 2014

No comments

Omulwadde bwa kokoolo akwata abasajja bwandiba nga buyita mu kwegatta Bannasayansi abakyagenda mu maaso n’okunonyereza ku kirwadde kino , bagamba nti obubonero bwonna bwebafuna bulaga akakwate wakati wa bino. Abasawo bano wabula bagamba nti bino tebisaanye kuleetera bantu kufndikira nti kokoolo ono ava mu kwegatta. […]

Bamusaayi muto basitula nkya

Ali Mivule

May 20th, 2014

No comments

Team yabamusaayi muto eyomuzannyo gwokubaka eya She Pearls egenda kusitula enkya kulwokusatu okwolekera egwanga lya Botswana mumpaka za Africa Youth championships. Team eno egenderako abazannyi 10 wamu nabakungu babiri okuli omutendesi Mubiru Rashid nomuwandiisi wekibina ekikulembera omuzannyo guno mugwanga Annet Kisomose. Emizannyo emirala egigenda okukirira […]

Luweero ayuuguumye nga kampeyini zifundikirwa

Ali Mivule

May 20th, 2014

No comments

Luweero ayuuguumye ng’abesimbyeewo ku kifo ky’omubaka omukyala bakomekkereza okuyigga akalulu. Aba NRM babadde Bombo ng’eno pulezidenti Museveni asabye abantu okulonda Rebecca Nalwanga kubanga alina obusobozi. E Wobulenzi, abavuganya gyebabadde nga bano babaddemu ababaka ba palamenti bonna. Bano era beegattiddwaako eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga era Munna […]