Amawulire

Okuwandiika abafuna densite kugenda kutuuka mu kiro

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Kaihura and Aronda

Mu kawefube ow’okwanguyiza abantu omulimu gw’okwewandiisa okufuna endagamuntu, gavumenti yakutandika okuwandiika abantu ekiro.

Bino byogedde minista ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima bw’abadde aggulawo omusomo gw’ennaku 2 eri abamu ku bakola omulimu gw’okufuna endagamuntu.

Nyakairima alaze bwenyamivu nti bukyanga kuwandiisa kutandika mu mwezi ogw’okusatu, abantu akakadde kano mu emitwaalo 80 beebokka abakewandiisa ku bukadde 30 obwa bannayuganda.

Ono agamba nti abantu bangi baba ku mirimu nga balina essuubi nti ssinga bawandiika n’ekiro , tewajja kubaawo kyekwaso kirala.