Olwali

Ono yakoowa abamukwana

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Omusajja abadde adedera omukyala kimuweddeko omukyala ono bweyekyaaye n’amweyambulira Omukyala abadde atambuka agage akizudde nti wabaddewo omusajja amulinnya akagere ate ng’abadde talina bw’amwatuulira Mu kino asazeewo okuyimirira n’atandika okweyambula engoye z’abaddemu lumu ku lumu n;asigala bukunya Ababaddewo beebakiguddeko kubanga bafubye kukuba nduulu na kubikka maaso […]

Abanene beeyongedde mu nsi

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Omuwendo gw’abantu abasukkiridde obunene gwongedde okulinnya okutuuka ku bantu obuwumbi 2 Omuwendo guno kumpi gwekubisizzaamu ng’abantu abaali abanene mu mwaka gwa 1980 baali obukadde 875 Okunonyereza okukoleddwa era kulaga nti tewabaddewo ggwanga lutuukirizza lutalo ku bunene Agamu ku mawanga agasingamu abantu abanene kuliko America, China, […]

aba taxi bawagidde okusengula Nakawa

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Abagoba ba taxi bategeezezza nga bwebatalina buzibu bwonna ku y’okusengula paaka ye Nakawa kasita babawa webadda awatuufu. KCCA yalangiridde nga bw’egenda okusengula paaka eno eddizibwe e Banda  mu kawefube w’okukendeeza omujjuzo. Akulira ba dereeva Mustapha mayamba agamba nti beebasooka okusaba paaka zino zissibweewo kale nga […]

Uganda ssiyakuva Somalia kati

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Amaggye ga Uganda ssigakuva mu ggwanga lya Somalia okutuusa ng’abatujju ba Alshabaab baweddeyo. Minista akola ku nsonga z’eby’okwerinda , Dr Crispus Kiyonga bino y’abyogedde bw’abadde awayaamu ne bannamawulire Kiyonga era awakanyizza ebigambibwa nti abatujju babaliisa akakanja ng’agamba nti beebakaabya abatujju bano Atangazizza nti era mu […]

Eby’obufuzi mu palamenti- Kadaga

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga atadde akaka ku byobufuzi mu palamenti Bw’abadde ayogerera mu Lukiiko lw’abababaka ba palamenti okuva mu mawanga agali mu lubu olumu ne Bungereza, Kadaga agambye nti ababaka basanze obuzibu bwamaanyi okukola emirimu gyaabwe kubanga bakubwa ku nsolobotto Kadaga agamba nti kino […]

Mukkirize ebyavudde e Luweero

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Ekibiina kya NRM kisabiddwa okukkiriza nti kyawangulwa mu kulonda okwabadde e Luweero Kiddiridde pulezidenti Museveni okulumiriza abavuganya okubba akalulu akaleka nga munna Dp Brenda Nabukenya ne Mubaka Wabula ab’omukago gw’ebibiina ebirwanirira ennongesereza mu mateeka g’eby’okulonda bagamba nti NRM erina okussa ekitiibwa mu byasalibwaawo abantu Akulira […]

Akabenje kasse 2 e Kyotera

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Abantu 2 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde ku kyalo  Nongo ku luguudo oluva e  Kyotera-Kalisiizo. Abagenzi bategerekese nga  Paul Walusimbi okuva mu district ye Rakai  ne  Julius Akwatampola ow’emasaka. Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti abagenzi babadde batambulira ku pikipiki ekimotoka kilukulurana nekibasaabala. Bagamba nti bano babadde […]

Abalamazi okuva e South Sudan batuuse

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Ekibinja ky’abalamazi 50 okuva mu ggwanga lya South Sudan batuuse ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo nga betegekera okukuza olunaku lw’abajulizi wiiki ejja. Akulira ekiggwa kino  father Joseph Mukasa Muwonge yayanirizza abalamazi bano nga banaabwe nabo bali mu kubo. Father Muwonge agamba bano bagasse ku banaabwe […]

Luweero: Aba DP babiri bakwatiddwa

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Obunkenke bweyongedde mu Disitulikiti ye Luweero oluvanyuma lw’abawagizi b’omubaka omukyala eyakalondebwa Brenda Nabukenya okukwatibwa. Ababiri abakwatiddwa kuliko Richard Katabira ne Julius Mayega abaakwatiddwa ku bigambibwa nti baawuttula abaali bakuuma obululu bw’owa NRM Rebecca Nalwanga eyali yesimbye ku Nabukenya. Omwogezi wa poliisi9 mu bitundu bino Lameck […]

Kasibante Yejjerezeddwa

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

Omubaka wa Rubaga ey’obukiika ddyo Moses Kasibante asambira mabega nga janzi oluvanyuma lwa kkooti okumwejereza emisango gyonna egibadde gimuvunanibwa. Kasibante abadde avunanibwa emisango okuli okukuba olukungaana olumenya amateeka, okukuma omuliro mu bantu saako n’okwonona emmotoka ya poliisi. Oludda oluwaabi lubadde lulumiriza  nti ono emisango yajizza […]