Amawulire

Kasibante Yejjerezeddwa

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

xxx

Omubaka wa Rubaga ey’obukiika ddyo Moses Kasibante asambira mabega nga janzi oluvanyuma lwa kkooti okumwejereza emisango gyonna egibadde gimuvunanibwa.

Kasibante abadde avunanibwa emisango okuli okukuba olukungaana olumenya amateeka, okukuma omuliro mu bantu saako n’okwonona emmotoka ya poliisi.

Oludda oluwaabi lubadde lulumiriza  nti ono emisango yajizza mu 2011 wali e Nakulabye bweyali agezaako okuwakanya okulayira kwa singh Katongole eyali alangiriddwa ku buwanguzi bw’omubaka wa Rubaga ey’obukiika ddyo Kasibante kyeyali awakanya nti baamubba.

Nga awa ensalaye, omulamuzi w’edaala erisooka  Simon kintu ategezezza nga oludda oluwaabi bwelwalemerelwa  okuleeta omujulizi yenna nga Muntu wabulijjo kubanga bonna abana abaawa obujulizi baali basirikale ba poliisi.

Omulamuzi era ategezezza nta abatuuze bebayonoona emmotoka ya poliisi ssi Kasibante kale nga abadde tayinza kuvunaana Muntu ku musango ogwadizibwa omuntu omulala.