Ebyobusuubuzi

Aba Paakayaadi tebalina kabuyonjo

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Parkyard biz

Abaddukanya ekisaawe kye Nakivubo beeralikirivu olw’abasuubuzi mu katale ka paakayaadi obutaba na kabuyonjo

Akola ku byensimbi ku Lukiiko oluddukanya ekisaawe Hajjati Miminsa Kabanda agamba nti kyewuunyisa nti abasuubuzi abasoba mu 1000 tebalina yadde kabuyonjo emu bweti

Wabula yye ssentebe w’abasuubuzi mu katale Hamza Kalema bino byonna ebisenze ng’agamba nti emyaka gino gyonna beebamanyi bwebabeerawo era ng’abe Nakivubo tebalaba lwaki kibaluma

Bagamba nti bulijjo bakozesa kabuyonjo za Nakivubo nga basasula nga bwebakola ku kabuyonjo ewalala

Wabaddewo entalo wakati w’abaddukanya ekisaawe kye Nakivubo n’aba paakayaadi ng’obunkenke ku kutya abasuubuzi bwebalina nti bandigobwa ab’ekisaawe kino.