Amawulire

Luweero- Pulezidenti Museveni alumirizza DP okubba obululu

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Museveni in Luweero

Pulezidenti museveni kyaddaaki avuddemu omwaasi ku byavudde e Luweero.

Pulezidenti agamba nti obubbi bw’obululu bususse mu nkambi ya DP

Ono agamba nti DP yatandika okubba akalulu mu mwaka gwa 1961 era nga ne Luweero yakoze ekintu kyekimu

Asonze ne ku Bushenyi, Entebbe ne Kasese gy’agamba nti abavuganya nayo babbirayo akalulu

Pulezidenti Museveni agamba nti okusinziira ku bujulizi bw’afunye, bwiino eyakozeseddwa ku bantu abalonze e Luweero yabadde wabikwangala ng’abantu obwedda balonda ate nebadda

Pulezidenti era agamba nti waliwo abadinzedinze abantu nti waliwo emmotoka ezigenda okubatwaala okulonda era bwebatyo nebasigala ewaka

Ono wabula agamba nti alina essuubi nti ng’enkola empya ey’okukozesa kompyuta okulonda ezze, bino byonna bijja kuggwaawo.

Wabula bbo ababaka abamu okuva mu NRM balagudde nti ekibiina kyandifiirwa abawagizi ssinga tekikola ku bizibu biruma bantu

Omubaka we Makindye mu Buvanjuba John ssimbwa agamba nti okusuubiza empewo, n’obutakulakulanya bantu byebimu ku biruma ennyo abanti.

Ssimbwa agamba nti abavubuka bakola ebitundu ebisukka mu 50 ku kikumi naye nga nabo tebafiiriddwaako

Ssimbwa era agamba nti gavumenti keekadde ekole ku basajja baayo abakuuma ddembe abakozesa eryaanyi ku bantu naye ng’ekibiina kyekivumibwa