Amawulire

Musooke muteese nga temunnagoba Bukenya

Ali Mivule

May 26th, 2014

No comments

BUKENYA IN LUWEERO

Ekibiina kya NRM kisabiddwa okusooka okukola ku bizibu ebiruma bannakibiina nga tebannapapiriza kubonereza abo abawagira abalala.

Kiddiridde eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya okugenda e Luweero n’ayiggira munna DP akalulu era ng’ekibiina kyatiisizza dda nga bw’agenda okubonereza.

Omubaka we Makindye mu buvanjuba John Siimbwa agamba nti ebizibu ebiri mu NRM bingi nnyo nga byebisaanye okusooka okukolebwaako.