Amawulire

Abavubuka ba NRM balumbye ekitebe ky’ekibiina

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

NRM youths arrested

Enkayana mu kibiina kya NRM Zikutte wansi ne wagulu nga kati waliwo ekibinja ky’abavubuka okuva mu zi yunivasite ezenjawulo abasazewo okulumba ekitebe ky’ekibiina wali e Kyaddondo nga bawakanya endoolito ezigenda maaso mu kibiina kyaabwe.

Bano era baagala akulira abavubuka ba NRM bonna mu ggwanga Dennis Namara alekulire kubanga alamereddwa okutabaganya ebiwayi by’abavubuka ebisika omugwa.

Twogeddeko n’akulembeddemu abavubuka bano Milton Mugyema n’ategeeza nga bwebakooye entalo nga kyebagaala beebakulembeze okubaako nekyebakola ku nkayaana.

Abavubuka mu kibiina kya  NRM bali mu ntalo nga abamu baagala omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yesimbewo awatali amuvuganya ate nga abalala balimabega wa ssabaminister Amama Mbabazi.