Amawulire

Poliisi erabudde Amama Mbabazi- olina okusaba olukusa

Poliisi erabudde Amama Mbabazi- olina okusaba olukusa

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Poliisi egamba nti eyali ssabaminisita Amama Mbabazi alina okusooka okusaba olukusa okuva eri abakulembeze b’ebitundu gy’agenda okwebuuza ku baayo ku by’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Kiddiridde Mbabazi okuwandiikira akakiiko akalondesa ng’abategeeza nti amateeka gamuwa ebbeetu okwebuuza ku bantu nga tannaba kuwandiisibwa era nga kino wakutandika okukikola […]

Waragi ayokeddwa

Waragi ayokeddwa

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Waliwo liita za waragi eziri eyo mu 1300 bangi gwebakazaako erya  Dete mu disitulikiti ya Agago gwebakumyeko omuliro. Waragi ayiisibwa abatuuze n’owomubuveera yawerebwa mu kitundu kino kubanga wabulabe. Waragi ono akwatiddwa mu katawuni ke Patongo nga era omubaka wa pulezidenti mu kitundu kino  Charles Ray […]

Teri ffujjo mu kulonda- Minisita

Teri ffujjo mu kulonda- Minisita

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Minisita w’ensonga z’omunda w’eggwanga alabudde abantu bonna okwewala effujjo nga twetegekera okulonda kwa 2016. General Aronda Nyakayirima okulabula kuno akuwadde atongoza okugaba endaga Muntu mu disitulikiti ye Masaka. Gen. Nyakayirima agamba nga okulonda kubulako emyezi mibale okutuuka, ebitongole ebikuuma ddembe  biri bulindaala okwanganga omukozi w’effujjo […]

Musasule abafiirwa mu kittabantu

Musasule abafiirwa mu kittabantu

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni ayagala eggwanga lya Rwanda liyirire bannayuganda bonna abafiirwa ebyaabwe mu lutalo olwaleeta gavumenti y’eggwanga lino mu buyinza wakati wa 1990-1994. Bweyabadde aggulawo ekkolero ly’enanansi wali mu  gombolola ye Maziba mu disitulikiti ye Kabale , pulezidenti Museveni yategezezza nga Rwanda ensonga eno […]

Gavumenti yewozezzaako ku misaala gy’abasomesa

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Minisitule y’ebyenjigiriza etadde abakulira ebyenjigiriza ku zi disitulikiti ku ninga banyonyole lwaki abamu ku basomesa tebannafuna musaala gwaabwe ogw’omwezi oguwedde. Kino kigyidde mu kiseera nga abamu ku basomesa mu disitulikiti ye Iganga, Arua ne Kampala tebannafuna musaala guno. Minisita omubezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako John Chrysostom Muyingo […]

Enkalala zekenenyezebwa

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Akakiiko k’ebyokulonda kakyagenda mu maaso n’okwekenenenya enkalala z’abalonzi okukakasa ebyo byonna ebyaweebwayo abalonzi. Akakiiko kano omwezi oguwedde kaamaliriza okuwandiisa bannayuganda nga twetegekera okulonda kwa 2016 omwezi oguwedde. Omwogezi w’akakiiko kano  Jotham Taremwa agamba enkalala zino zakumaliriziba akadde konna basobola okutandika okuzitimba kwebasuubira okutandika nga 22 […]

Abasuubuzi bakyatubiridde e Congo

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Enkaayana z’ettaka ku nsalo eyawula Uganda ne Congo zikyagenda mu maaso oluvanyuma lw’enjuuyi zombi okulemererwa okukkanya ku ani nanyini ttaka omutuufu. Ekitundu kye Vura  mu disitulikiti ye  Arua kyaggalwa oluvanyuma lwa Congo okweyongeza ettaka lya Uganda eriwezaako mita 300 okuva ku nsalo yaabwe . Abakungu […]

Ebbugumu erisusse lisse abantu

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Abantu abasoba mu 120 bafudde mu ggwanga lya Pakisatan mu ssaza lye Sindh olw’ebbugumu erisusse. Ab’ebyobulamu bagamba nti okusinga bafudde mu bitundu bye Karachi nga eno akasana kali pereketya nga era abasinga kati basigala mu mayumba gaabwe okwewala ekibambulira. Mu bitundu ebisinga amasanyalaze matono ddala […]

Eyasse abantu e Kenya  yabadde mutujju

Eyasse abantu e Kenya yabadde mutujju

Ali Mivule

June 20th, 2015

No comments

Munansi w’eggwanga lya Bungereza eyattidwa mu bulumbaganyi obwakoleddwa mu ggwanga lya Kenya, kizuuliddwa nti abadde namba 2, mu bakulira ekimu ki bibinja bya banalukalala na Al –shabab mu ggwanga lya Somalia. Thomas Evans, 25, okuva Buckinghamshire yattiddwa mu bulumbaganyi obwakolebwa nga 14 omwezi guno omwafiira […]

Mulondoole amasomero okumanya amabi

Ali Mivule

June 20th, 2015

No comments

Minisitule y’ebyenjigiriza ewereddwa amagezi okwongera amaanyi mu kitongole ekirambula amasomero. Mu kiseera kino minisitule eteeka ensimbi obuwumbi obusoba 2 mu kulambula amasomero kyoka abamu bagamba nti ensimbi zino ntono nyo. Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya  Uganda National Teachers Union James Tweheyo agambye nti olw’ensimbi entono […]