Amawulire

Gavumenti yewozezzaako ku misaala gy’abasomesa

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

school chin

Minisitule y’ebyenjigiriza etadde abakulira ebyenjigiriza ku zi disitulikiti ku ninga banyonyole lwaki abamu ku basomesa tebannafuna musaala gwaabwe ogw’omwezi oguwedde.

Kino kigyidde mu kiseera nga abamu ku basomesa mu disitulikiti ye Iganga, Arua ne Kampala tebannafuna musaala guno.

Minisita omubezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako John Chrysostom Muyingo agamba minisitule y’ebyenjigiriza y’aweereza dda emisaala gino kale ng’abakulira ebyenjigiriza bano balina okunyonyola ku nsonga eno.

Muyingo wabula agamba nti waliwo abasomesa abamu abatanammaliriza kujjuza mpapuloa zeetagisa okufuna emisaala gyabwe ng’abamu tebannawaayo akawunti namba zaabwe kale nga tebasobola kufuna musaala.