Amawulire

Teri ffujjo mu kulonda- Minisita

Teri ffujjo mu kulonda- Minisita

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Aronda and cards

Minisita w’ensonga z’omunda w’eggwanga alabudde abantu bonna okwewala effujjo nga twetegekera okulonda kwa 2016.

General Aronda Nyakayirima okulabula kuno akuwadde atongoza okugaba endaga Muntu mu disitulikiti ye Masaka.

Gen. Nyakayirima agamba nga okulonda kubulako emyezi mibale okutuuka, ebitongole ebikuuma ddembe  biri bulindaala okwanganga omukozi w’effujjo yenna.

Minisita w’ebyobulambuzi Maria Mutagamba nga y’akiikiridde omugenyi omukulu omumyumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka SSekandi, agamba endaga Muntu zino zakuyamba bannayuganda okumanyisa abalala webasangibwa n’emigaso emirala.

Wabula Mutagamba alabudde ku bantu abatandise okujingirira paasipooti era n’asoomoza minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga okukola ekisoboka okumalawo amajingirizi gano.