Amawulire

Musasule abafiirwa mu kittabantu

Musasule abafiirwa mu kittabantu

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Museveni  addresses villagers

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni ayagala eggwanga lya Rwanda liyirire bannayuganda bonna abafiirwa ebyaabwe mu lutalo olwaleeta gavumenti y’eggwanga lino mu buyinza wakati wa 1990-1994.

Bweyabadde aggulawo ekkolero ly’enanansi wali mu  gombolola ye Maziba mu disitulikiti ye Kabale , pulezidenti Museveni yategezezza nga Rwanda ensonga eno bw’ebadde egitunulira ekyamuli sso nga kyetaagisa.

Museveni yasuubizza okujjukiza omukulembeze w’eggwanga lya Rwanda Paul Kagame ku nsonga eno  era singa gavumenti ya Rwanda tekituukiriza, wakukyekolera ye kenyini aliyirire abafiirwa ebyaabwe.

Enkumi n’enkumi z’abannayuganda mu magombolola okuli Maziba, Buhara, Kamwezi, Kamuganguzi, Rubaya ne  Butanda nga bano bali kumpi n’eggwanga lya Rwanda bafiirwa obulamu bwabwe wamu n’ebyabwe mu kitta bantu kino.