Amawulire

Abasuubuzi bakyatubiridde e Congo

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Congo strike

Enkaayana z’ettaka ku nsalo eyawula Uganda ne Congo zikyagenda mu maaso oluvanyuma lw’enjuuyi zombi okulemererwa okukkanya ku ani nanyini ttaka omutuufu.

Ekitundu kye Vura  mu disitulikiti ye  Arua kyaggalwa oluvanyuma lwa Congo okweyongeza ettaka lya Uganda eriwezaako mita 300 okuva ku nsalo yaabwe .

Abakungu okuva mu gavumenti ya Congo beekwasa nti bbo wano baagala kuzimbawo kibangirizi kyakusimbamu bidduka.

Ensisinkano eno y’abadde wakati w’omubaka wa pulezidenti mu Arua, Peter Debele n’aduumira poliisi mu kitundu kino Fredrick Ssegirinya ku lwa Uganda sso nga aba Congo baakikiriddwa abawerako nga bakulembeddwamu gavana w’essaza lye Oriantale Province Jean Bamanisa.

Wabula okusinziira ku ndagaano ye  Ngurodoto eyatekeebwako emikono omukulembeze w’eggwanga lya Congo Joseph Kabila ne Uganda Yoweri Museveni okupima kw’ettaka ly’ensalo tekunakolebwa.