Amawulire

Enkalala zekenenyezebwa

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

EC

Akakiiko k’ebyokulonda kakyagenda mu maaso n’okwekenenenya enkalala z’abalonzi okukakasa ebyo byonna ebyaweebwayo abalonzi.

Akakiiko kano omwezi oguwedde kaamaliriza okuwandiisa bannayuganda nga twetegekera okulonda kwa 2016 omwezi oguwedde.

Omwogezi w’akakiiko kano  Jotham Taremwa agamba enkalala zino zakumaliriziba akadde konna basobola okutandika okuzitimba kwebasuubira okutandika nga 22 July 2015.

Ku zino kwekugenda okusinziirwa okulonda abakulembeze mu mwaka ogujja