Amawulire

Waragi ayokeddwa

Waragi ayokeddwa

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Waragi old men

Waliwo liita za waragi eziri eyo mu 1300 bangi gwebakazaako erya  Dete mu disitulikiti ya Agago gwebakumyeko omuliro.

Waragi ayiisibwa abatuuze n’owomubuveera yawerebwa mu kitundu kino kubanga wabulabe.

Waragi ono akwatiddwa mu katawuni ke Patongo nga era omubaka wa pulezidenti mu kitundu kino  Charles Ray Okwir agamba bakoze kino okuteeka mu nkola eyasalibwawo olukiiko lwa disitulikiti okuwera waragi w’ekika kino.

Omu ku batunda n’okugula  waragi ono mu disitulikiti atayagadde kwatukirizibwa manya ategezezza nga buli kidomola kya waragi ono bwekigula emitwalo 5 nga kale bafiiriddwa obukadde nga 20.

Ye omu ku batuuze  mu kitundu kino Matilda Acala agamba okusaanyawo waragi ono kirungi ddala kubanga kyakubataasa ku bawaddanga abatuntuza bakyala baabwe.