Amawulire

Poliisi erabudde Amama Mbabazi- olina okusaba olukusa

Poliisi erabudde Amama Mbabazi- olina okusaba olukusa

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Kaihura new 2

Poliisi egamba nti eyali ssabaminisita Amama Mbabazi alina okusooka okusaba olukusa okuva eri abakulembeze b’ebitundu gy’agenda okwebuuza ku baayo ku by’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga

Kiddiridde Mbabazi okuwandiikira akakiiko akalondesa ng’abategeeza nti amateeka gamuwa ebbeetu okwebuuza ku bantu nga tannaba kuwandiisibwa era nga kino wakutandika okukikola nga 9 omwezi ogujja ng’asookera e Mbale, Soroti ne Moroto

Wabula omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti yadde ssabawolereza wa gavumenti yategeezezza nti kituufu Mbabazi mutuufu okwebuuza ku bantu, kino tajja kukikola mu bifo bya lukale.

Enanga agamba nti Mbabazi tajja era kukkirizibwa kugaba bintu bya kampeyini ng’ebipande n’emijoozi kubanga tekikkirizibwa

Ono akinogaanyizza nti nga poliisi, bajja kuba balondoola Mbabazi okulaba nti enkiiko z’okwebuuza ku bantu ate tezifuuka kadaala ka byabufuzi

Mbabazi yalangirira mu butongole nti wakwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga mu mwaka 2016