Amawulire

Ekiteeso Kyo’mubaka Magyezi Kisomeddwa, Okujja Ekkomo ku Myaka

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2017

No comments

Bya Kyeyune Moses Ekiteeso ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga kyanjuddwa era omubaka wa Igara West, Rapheal Magyezi naweebwa olumummula lwa palamenti, okuleeta ebbago ngomubaka ssekinoomu okukola ennongosereza mu ssemateeka, jja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga. Ono kataki akiriziddwa okubaga ebbago okukwata mu […]

Ababaka 25 bagobedwa mu parliament.

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2017

No comments

Bya moses kyeyune. Getwakafuna  okuvamu parliament galaga nga speaker  Rebecca Kadaga  bwagobye ababaka ba parliament 25  lwakusiiwuka mpisa akawungezi akayise. Abamu kubagobeddwa kuliko :Roanld Kibuule, Allan Sewanyana, Monica Amoding, Sam Lyomoki, Moses Kasibante  Nambooze Betty, Sentamu Kyagulanti, Zaake Francis, Ibrahim KAsozi, William Nzoghu, Gilbert Olanya, […]

Ettaka libisse abantu musanvu mu district ye Rubanda

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2017

No comments

Bya Samuel Ssebuliba. Mu district ye Rubanda agavaayo galaga nga abantu musanvu bwebafudde mu kiro ekikeeseza olw’aleero , nga kino kidiridde etaka okubumbulukuka. Eno enjega ebadde mu gombolola ye Muko, wabula nga etaka lino liyeze abantu bano neribasuula mu gombolala endala eye Bufundi. Ayogerera police […]

Ebyo’kuteesa mu Palamenti Bisanyaladde, Olutuula Lwongezeddwayo

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Ebyokuteesa mu palamenti bisanyaladde akawungeezi ka leero, ngomukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga awaliriziddwa okwongezaayo olutuula lwa leero, okutukira ddala olwenkya ku ssaawa 8. Ebyokuteesa ku kiteeso kyomubaka wa Igara West Raphaeal Magyezi kubadde kuzeemu, ababaka ate kwekutabanguka. Ababaka bayimbye oluyimba lwe gwanga […]

E Mpigi Abazigu Basse Kansala Wa’bavubuka

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Entiisa ebutikidde abatuuze be Mpambire mu distrct ye Mpigi abaziggu bwebasse Kansala w’abavubuka nebaleka mukazi we nga bamutemyetemye nga bamulese bamusibye emigwa. Tadeo Ssebunya Kasule owemyaka 30 ngabadde musuubuzi w’ebizimbisibwa yatiddwa. Ono abatemu okumutta  baamusanze mu maka ge nebamutematema, nebamuleka ngataawa wabula, […]

Kattikiro wa Buganda Alaze Okutya Olwokujja Ekkomo ku Myaka

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2017

No comments

MENGO Bya Shamim Nateebwa Kamalabyonna wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiiga asabye poillisi okubaako ne kyekoola ku ttemu  erigenda mu maaso mu bitundu bya Uganda ebyenjawuulo nasaba nti enjogera ya Tukyanonyerezza ekome kubanga tewa makulu, wabula okumal;amu amaanyi. Katikkiro agamba nti ettemu, ekibba ttaka nebyokujja […]

E Mukono aba DP Bakwatiddwa

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2017

No comments

MUKONO Bya Ivan Ssanaulya Poliisi e Mukono ekutte abekibiina kya DP ababadde bekalakaasa ku by’okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembezze w’eggwanga. Abakwatiddwa kubaddeko, ssentebbe wa division ye Goma Erisa Mukasa Nkoyooyo, omukubiriza wolukiiko lwa munisipaali Hamiyat Nakigudde, ba Kkansala nabawagizi bekibiina. Embeera ebadde ya bunkenke.

Ababadde Bekalakaasa e Lugazi Poliisi Ebakutte

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2017

No comments

LUGAZI Bya Ivan Ssenabulya Eyali omubaka wa Buikwe South mu palamenti, nga ye ssentebbe wekibiina kya DP e Buikwe, Dr Micheal Lulume Bayigga naye yegasse ku bawkanya ebyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga. Dr Lulume abadde akulembeddemu ekibiina kyabwagizi bekibiina olwaleero, okwekalakaasa nga bababdde […]

Ababaka Balwanidde mu Palamenti

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune ne Ivan Ssenabulya Embeera ekyali ya bbugumu palamenti, ababaka aboludda oluvuganya gavumentio balumirizza nti wandibaawo abayingizza emmundu munda omutesebwa. Ababaka balabiddwako nga bekasukira obutebe wakati mu kulwanagana. Essaawa zibadde 8 ne dakiika 40, omukuiriza wa palamenti Rebecca Kadaga natuuka. Wabula palamenti etabanguse […]

Abiriga Akirizza Okufuyisa ku Kkubo

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe Omubaka owa munispaali eye Arua, Ibrahim Abiriga akaksizza nga bweyafuyisizza ku kkubo. Kino kidiridde ebifanayiz ebibadde bisasaana wonna, nga biraga omubaka ono ngafuyisa ku mabbali goluguudo ku kisenge . Ono bwabadde ayogera ne banamwulire ku palamenti, emisana ga leero Abiriga agambye nti […]