Amawulire

Ababaka Balwanidde mu Palamenti

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune ne Ivan Ssenabulya

Embeera ekyali ya bbugumu palamenti, ababaka aboludda oluvuganya gavumentio balumirizza nti wandibaawo abayingizza emmundu munda omutesebwa.

Ababaka balabiddwako nga bekasukira obutebe wakati mu kulwanagana.

Essaawa zibadde 8 ne dakiika 40, omukuiriza wa palamenti Rebecca Kadaga natuuka.

Wabula palamenti etabanguse ababaka bwetanudde okuvumbagira obuzindaalao, nokulekaana nga bagamba nti omubaka wa Mukono North, era minister omubeezi owamazzi Ronald Kibuule yazze ne mmundu munda, nga bagamba kitadde obulamu bwabwe mu matigga.

Wabula kibuule, ekkooti ezigyemu nazikunkumula nti byebamwogerako ssi bituufu.

Kati Kadaga alagidde ababaka bonna bekeberebwe, omu ku omu okulaba obanga banazuula emundu abamu zebogerako.

Yye Speaker Rebecca Kadaga ategezezza  Parliament nti ekiteeso kyomubaka wa Igara West, Raphael Magyezi ddala kyatukirizza ebisanyizo, okubeera ku bibadde bigenda okutesebwako.

Ategezeza nti gavumenti babadde bajiwadde obudde obumala, okuleeta ennongoseerrza mu ssemateeka ezawamu nayenga butererer, kalenga bakutwala ebiteeso byababaka ssekinoomu abagaala okuleeta amateeka agenjawulo mu bubage.

Wabula ategezezza nti tekibadde ku bigenda okutesebwako olwaleero lwa nsonga ya budde.

Kino kati kitegeeza nti ono wakugenda mu maaso nokuleeta ebbago, kavuna lifunye nobwagizi okuva mu bekibiina kya NRM mwenyini.

Ono ayagala akawayiro 102(b) kakolebwemu ennongoererza okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga, 75 gyalina okukomako okufuga.