Amawulire

Ekiteeso Kyo’mubaka Magyezi Kisomeddwa, Okujja Ekkomo ku Myaka

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2017

No comments

Bya Kyeyune Moses

Ekiteeso ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga kyanjuddwa era omubaka wa Igara West, Rapheal Magyezi naweebwa olumummula lwa palamenti, okuleeta ebbago ngomubaka ssekinoomu okukola ennongosereza mu ssemateeka, jja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Ono kataki akiriziddwa okubaga ebbago okukwata mu kawayiro 201/b aka ssemateeka we gwanga, akakwata ku myaka gyomukulembeze we gwanga 75 ejibadde jirambikiddwa.

Ekiteeso kino kisomeddwa, wakati mu kusika omugwa okubaddewo, wabulanga kiwagiddwa omubaka wa munisipali eye Jinja, Moses Balyeku.

Magyezi agamba nti, kino akikoze kubanga gavumenti erwemererddwa okuleeta ennongosereza eza wamu.

Waddenga aomubaka wa muniapaali eye Fort Portal, Alex Ruhunda agezaako, okwekuba ku Kadaga.

Agambye nti waddenga okukyusa mu ssemateeka kwetagisa naye kyandiretawo akatybaga mu gwanga.

Ababaka bagambye nti nembeera omutima ekiteeso kya Magyezi mwekijidde sssi nungi nakamu, kubanga banansi okwetoola egwanga bakiwakanyizza.

Bino byonna Speaker Kadaga tabiwuliriizza.

Wabula yye omubaka wa Kyaka South mu palamenti, Jackson Kafuuzi ategezezeza nti Uganda gwanga tto ddala, nga teryetaaga kwesiba ku mateeka ate agekisibira mu bbwa.

Bino okugenda mu maaso kidiridde ababaka aboludda oluvuganya gavumenti abolupattu, nga abakulembeddwamu Winie Kiiza okwabulira olutuula lwa leero wakati mu bbugumu eribaddewo.

Akulira oludda oluvuganya gavumenti Winie Kiiza, asoose kubaako byasaba okwogera nayenga wa, taweebwa Mukisa, naye kwekwekandagga, abasigadde nebamugoberera.

Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kdaga aweze nti tejja kumala gakiriza, effujjomu palamenti, nganenyezza nnyo aboludda oluvuganya gavumenti.