Amawulire
Pulezidenti asakidde uganda esomero .
Bya Ritah Kemigisa . Omukulembeze we gwanga lyatu uganda YKM nakakano akakyali mu Dubai ategeezeza omukulembeze we Sharjah – Bin Mohammed Al-Qasimi nga uganda bweyetegese okumufunira etaka edene waayinza okuzimba esomero gagadde ely’ebimokono. Bano okutuuka wano bamaze kuwayaamu okumala akabanga, nebakiriziganya nti kyetagisa okutumbula eby’enjigiriza […]
Omulord Erias Lukwago awakanyiza eby’okutwala ba kansala e kyankwanzi.
Bya damalie Mukaye Omulord w’ekibuga Kampala ssalongo Erias Lukwago alabudde minister wa kampala Betty Namisango Kamya okukozesa ekitongole kya KCCA nga akatuuti k’ebyobufuzi nga anonyeza omukulembeze we gwanga obuwagizi ku ky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga. Bwabadde ayogerako ne banaamawulire wali mu office ye- […]
Ebibuuzo bya P.7 bitandika nkya.
Bya Damalie Mukhaye. Olwaleero abaana aba ab’ekibiina kya P. 7 lwebagenda okukola ekibuuzo kyabwe ekisooka nga kino kigenda kuba kyakubabulirira by’ebalina okugoberera, olwo ebibuuzo by’enyini babikole ku lw’okuna n’olwokutaano. Twogedeko ne ssabawandiisi w’ekitongole kino Dan Odongo n’agamba nti baliko amateeka amakambwe gebawadde abasomesa, kko n’abagenda […]
Eyabbye amatooke akubiddwa emboko.
Bya Malik Fahad. E Sembabule waliwo omusajja asimatuse okutibwa abatuuze nga ono alangibwa kubba matooke g’abatuuze ku kyalo. Eno enjega ebadde ku kyalo Kawanda nga eno abatuuze bagwikirizza omusajja ono George William Zziwa ow’emyaka 40 nga akuluggusa amatooka g’abatuuze. Abatuuze bagamba nti ono yalumbye olusuku […]
Ow’emyaka asatu asobeza ku w’emyaka etaano.
Bya Abubaker Kirunda. E Iganga agavaayo galaga nga bwewaliwo omusajja ow’emyaka 30 akwatidwa nga ono kigambibwa nti aliko omwana ow’emyaka 5 gwasobezaako Omukwate ono kizuulidwa nga mutuuze we Buseyi mu gombolola ye Nakalama. Ayogerera Police yeeno James Mubi atubuulide nti omusajja ono omwana gwayasobezaako mwana […]
Abaana be Makerere bakukangavvulwa.
Bya Damalie Mukhaye. Mukawefube ow’okulwanyisa emize egyokwekalakasanga mu baana abasomera e Makerere, abakulu mu tendekero lino batedewo akakiiko akagenda okulola ku nsonga z’empisa mu baana bano. Twogedeko n’amyuka akulira etendekero lino Proff.Barnabus Nawangwe, natubuulira nti akakiko akateredwawo kaakutulako abantu 5 bokka, nga kano kekagenda okusalangawo […]
Ebago ly’eteeka ku myaka gya president lyakutandika okwekenenyezebwa leero.
Bya kyeyune moses Olunaku olwaleero akakiiko ka parliament akakola ku by’amateeka lwekagenda okutandika okwekeneenya ebago ly’eteeka erigenderedwamu okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga. Akakiiko kano akakukulemberwa omubaka wa West Budama Jacob Oboth, kagenda kusooka kuwayaamu n’omubaka wa Igara West MP Raphael Magyezi eyaleeta […]
Kenyatta alangiriddwa ku buwanguzi obululu yakukymbye
Omukulembeze we gwanga erya Kenya Uhuru Kenyatta nate alangiriddwa ku buwnaguzi, oluvanyuma lwokulonda okwokuddibwamu okwaliwo nga October 26th okwobukulembeze bwe gwanga. Ono alangiriddwa ssentebbe wakaiiko akebyokulonda mu gwanga lya Kenya aka IEBC Wafula Chebukati akawungeezi kano e Bomas mu kibuga ekikulu Nairobi, awabadde wabalirwa obululu. […]
Okulonda tekugenda kwongezebwayo
Bya Damalie Mukhaye Akakiiko kebyokulonda mu gwanga aka Electoral Commission kategezezza nti tebagenda kwongezaayo ssale ssale owokuwandiisa abalonzi abanetabab mu kulonda kwe byalo. Ssale ssale ono wa lwaleero, waddenga abamu basaba nti enteka teeka yokuwandiisa eyongezebweyo. Okuwandiisa abalonzi ku byalo kwaggulwawo ku Lowkuna lwa wiiki […]
basattu bakwatiddwa ku byekuusa ku kusadaaka omwana
Bya Malikh Fahad Police mu district ye Masaka, eriko abantu 3 begalidde nga kigambibwa benyigira mu kusadaaka omwana owmwaka ogumu, eyabadde abuze okumala wiiki namba. Abakwate poliisi egamba nti kuloko omusawo wekinnansi Moses Mukibi, Deo Walakira nomwana omulenzi owemyaka 12. Okunonyererza kwa poliisi okusooka kulaga […]