Amawulire

Ebago ly’eteeka ku myaka gya president lyakutandika okwekenenyezebwa leero.

Ivan Ssenabulya

October 31st, 2017

No comments

Bya  kyeyune moses 

 

Olunaku olwaleero akakiiko ka parliament akakola ku by’amateeka lwekagenda okutandika okwekeneenya ebago ly’eteeka erigenderedwamu okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.

Akakiiko kano akakukulemberwa omubaka wa West Budama Jacob Oboth, kagenda kusooka kuwayaamu n’omubaka wa Igara West MP Raphael Magyezi eyaleeta ebago lino wamu ne  minister akola ku by’amateeka Gen Kahinda Otafiire.

Munsisinkano eno, omubaka Magyezi asuubirwa okunyonyola lwaki ebago lino lyetagisa, songa ku ludda olulala ye  minister Otafire asuubirwa okunyonyola lwaki eteeka lino government nayo ely’etaga.

Abalala abagenda okulabikako mu kakiiko kano bebakulu okuva mu kakiko akakola ku nsonga z’obwenkanya mungabanya y’emikisa oba aka  ‘’Equal Opportunities Commission’’, nga bano bagenda kunyonyola oba ebago lino limatiza obwetavu bwabuli kikula ky’amuntu mu uganda

Abalala abanajja mu maaso eyo kuliko  ab’akakiiko akakola ku by’amateeka aba ‘’Law Reform Commission’’, akakiiko keby’okulonda, ekibibiina ekitaba banamateeka, kko n’akakiiko akataba abasawo nga bano bebagenda okutegeeza egwanga oba omuntu bwasuka emyaka 75 engeri gyategeeramu ekyuka.