Amawulire

Omulord Erias Lukwago awakanyiza eby’okutwala ba kansala e kyankwanzi.

Ivan Ssenabulya

November 2nd, 2017

No comments

Bya damalie Mukaye

Omulord w’ekibuga Kampala ssalongo Erias Lukwago alabudde minister wa kampala Betty Namisango Kamya okukozesa ekitongole kya KCCA nga akatuuti k’ebyobufuzi nga anonyeza omukulembeze we gwanga obuwagizi ku ky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.

Bwabadde ayogerako ne banaamawulire wali mu office ye- Lukwago agambye nti nga 31st- October omukyala ono yawandiikidde executive director Jenipher Musisi nga amulagira etegeke ba councilors bonna aba KCCA batwalibwe e kyakwazi batendekebwe nga tebanayogera ku kyakujja komo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.

Ono agamba nti nga KCCA, bbo tebali muntekateeka za kamya, kale nga wadembe okukunganya abantu abafananako ba councilor n’abatwala e kyanwanzi wabula nga bbo aba KCCA agwana abesonyiwa.