Amawulire

Kenyatta alangiriddwa ku buwanguzi obululu yakukymbye

Ivan Ssenabulya

October 30th, 2017

No comments

Omukulembeze we gwanga erya Kenya Uhuru Kenyatta nate alangiriddwa ku buwnaguzi, oluvanyuma lwokulonda okwokuddibwamu okwaliwo nga October 26th okwobukulembeze bwe gwanga.

Ono alangiriddwa ssentebbe wakaiiko akebyokulonda mu gwanga lya Kenya aka IEBC Wafula Chebukati akawungeezi kano e Bomas mu kibuga ekikulu Nairobi, awabadde wabalirwa obululu.

Ono akukumbye obululu 98.2% nomumyuka we William Rutto, oluvanyuma lwabavuganga gavumenti aba NASA, nga bakulemberwa Raila Odinga okuzira okulonda.

Mu kusooka, Chebukati ategezezza nti mu masaza gyebatalonze, tekyakosezza ebyavudde mu kulonda ebyawamu.

Ono era asabye bann-Kenya okwagala egwanga lyabwe nokukulembeza democrasiya.

Bwabadde ayogerako eri egwanga oluvanyuma lwokulangirirwa ku buwanguzi, Kenyatta ayongedde okulaga obumalirivu okukuuma ssemateeka we gwanga.

Era yebazizza nnyo bann-Kenya olwokuba abavumu okwetaba mu kulonda, era navumirira ebikolwa ebyekologo Odinga byeyetabamu.

Kigambibwa nti Odinga yalwako ne ssbalogo omu mu gwnga lya Kenya.