Amawulire

Ebibuuzo bya P.7 bitandika nkya.

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye.

Olwaleero abaana aba ab’ekibiina kya P. 7  lwebagenda okukola ekibuuzo kyabwe ekisooka nga kino kigenda kuba kyakubabulirira by’ebalina okugoberera, olwo ebibuuzo by’enyini babikole ku lw’okuna n’olwokutaano.

Twogedeko ne ssabawandiisi w’ekitongole kino Dan Odongo n’agamba nti baliko amateeka amakambwe gebawadde abasomesa, kko n’abagenda okukuuma ebibuuzo bino, kale nga mpaawo agenda kukirizibwa kweyisa nga bwayagala mukadde kano

Abaana bano batandika na kibuuzo kya kubala- Mathematics  ne SST ate ku lw’okutaano  bakole eby’ediini, Science  n’oluzungu.