Amawulire

Abasawo e kalangala beekalakaasizza

Ali Mivule

March 3rd, 2014

No comments

     Abasawo mu ddwaliro ekkulu e Kalangala bassizza wansi ebikola lwa musaala Omu ku bakozi bano atatubuulidde mannya ge agamba nti abamu bamaze emyezi mukaaga nga tabafuna musaala. Ate abalala bafuna bitundu. Omusawo ono agambye nti bafunye okutegeeza bekikwatako naye nga tewali kikolebwa era […]

Ebiri mu buduukulu bwa poliisi byewunyisa

Ali Mivule

March 3rd, 2014

No comments

Ebiri mu kaduukulu ka poliisi ku CPS mu kampala byewunyisa. Lino yadde kkomera naye waliyo abaloodi n’abaavu. Obadde okimanyi nti ba ofiisa ba poliisi baling bakatonda nga beebasalawo wa w’osula. Wano ekikweyimirira nsimbi zo. Kati nno aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi akyaddeko […]

Ababbi b’amazzi babakutte

Ali Mivule

March 3rd, 2014

No comments

    Ekitongole ky’ebyamazzi  olwaleero kikoze ebikwekweto mwekikwatidde ababbirira amazzi era nebabasalako. Abasoose okusalwako beebe kifo webooleza emmotoka  ekya Evolutions washing bay ekyoku payini ekisangibwa ku luguudo lwa Lumumba Avenue. Abakulira ekifo kino kigambibwa okuba nti bataganjula mita y’amazzi nga era babadde basasula ssente ntono […]

Musasule abasomesa

Ali Mivule

March 3rd, 2014

No comments

Ababaka ba palamenti abatula ku kakiiko k’ebyenjigiriza okugwa kw’abayizi mu bigezo ebitali bimu bakutadde ku basomesa butafuna musaala gumala nga kino kibamalamu amaanyi okukola omulimu gwabwe. Ababaka okuli akiikirira abakyala b’e Lwengo Gertrude Nakabira ne  Lucy Ajoko  owa Apachi bagamba omusaala gw’amasomesa gwandiyongezeddwa olwo nabo […]

Abadde abbye omwana akwatiddwa

Ali Mivule

March 2nd, 2014

No comments

  Police e Nakulabye  wano mu kampala eriko omukyala atemera mu gy’obukulu 45 gw’etaasiza ku batuuze ababadde bakaaye lwakubba baana Atwala poliisi  ye Nakulabye Musa Tamuzadde , atubuulidde nti Beatrice Malachi  yasangiddwa n’omwana wa Robinah Nakalazi  ow’emyaka 4 gyokka, nga ono kigambibwa nti abadde yabula […]

Omusajja atuze omwana ow’emyezi 6 gyokka

Ali Mivule

March 2nd, 2014

No comments

  E Bugiri  waliwo omusajja atuze omwana ow’emyezi 6 gyokka n’amutta,  oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya ne maama w’omwana ono. Kigambibwa nti Peter Wanjala, omutuuze we  Butyabule , abadde bba wa maama w’omugenzi, era nga yajja naye okufumbirwa ewa wanjala , wabula bwebafunyeemu obutakaanya , wanjala n’akkira […]

Ababadde bagema abaana battiddwa

Ali Mivule

March 1st, 2014

No comments

Obulumbaganyi bwa bbomu obukoleddwa ku basawo ababadde bagema abaana mu ggwanga lya Pakistan bulese abantu 10 nga bafu Bbomu eno ebadde etegeddwa mu kkubo awabadde wayita oluseregende omubadde abasawo abagema abaana obulwadde bwa Poliyo nga bava nju ku nju Obulumbaganyi bw’ekika kino bubadde buludde okulabikako […]

aba DP bajaguza myaka 60

Ali Mivule

March 1st, 2014

No comments

Ekibiina kya Democratic Party kyewozezzaako ku ky’okulemererwa okuyingira mu buyinza emyaka emingi gyekimaze nga wekiri. Okwewozaako kuno kuzze ng’ekibiina kno kikuza emyaka 60 bukyanga itandikibwaawo. Ssabawandiisi wa DP Matia Nsubuga agamba nti embeera y’ebyobufuzi mu Uganda tebaberedde nyangu ng’ekolera abo abali mu buyinza Ono era […]

Abatta ebisolo mukube ku nyama

Ali Mivule

March 1st, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni alagidde nti abo bonna abakwatibwa nga bayigga ebisolo mu malundiro bakubwe amasasi. Pulezidenti agamba nti okuleka abantu bano nebasigala nga bajagaana , amaggye ga gebaaseemu Omukulu ono agamba nti y’ensonga lwaki gavumenti yatandika enteekateeka z’okujjako ebibinja by’abayizzi b’ebisolo emmundu neziwebwaayo eri bannamaggye Pulezidenti […]

Okusala obuyambi- tebannatutegeeza mu butongole

Ali Mivule

March 1st, 2014

No comments

Gavumenti yakusigala ng’oyogeramu n’abaagabirizi b’obuyambi ku buyambi obuzze busalwa ku Uganda. Bino byogeddwa ssabaminista Amama Mbabazi bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu kampala. Mbabazi agambye nti wabula gavumenti tennafuna kutegeezebwa mu butongole nti banka y’ensi yonna yasazizzaamu obuyambi bw’ebadde ewa Uganda. Mbabazi yenyamidde nti ebikolw aby’okusala […]