Amawulire

Ekifo kya loodimeeya kyakujjuzibwa

Ali Mivule

February 26th, 2014

No comments

Akakiiko akalondesa kakasizza nti katandise okukola ku nteekateeka z;okulonda meeya w’ekibuga omuggya Kino kiddiridde okufuna ekiwandiiko okuva eri ssabawolereza wa gavumenti ng’abasaba okutegeka okulonda. AKulira akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu agamba nti batandiseeko era ng’emyezi omukaaga weginaggweerako nga baliko webatuuse. Kyokka Kiggundu asabye abantu okusigala […]

Abayizi ebya S4 bacacanca

Ali Mivule

February 26th, 2014

No comments

Nga abaana abakoze obulungi mu bigezo bya siniya eyokuna bakyagenda maaso bakyajaganya, omu ku bayizi abasasulirwa kampuni ya Daily Monitor Judith Nalwago akyakyankaya olw’okufuna obubonero 8 mu massomo 8ku ssomero lya St Mary’s college Namagunga.. Nalwoga atenderezza nyo kampuni ya  Monitor publications limited olwokumusasulira fiizi […]

Eby’okulonda anadda mu kifo kya Kipoi biwedde

Ali Mivule

February 26th, 2014

No comments

Akakiiko kebyokulonda  akategeezeza nga bwekamazze okwetegeka bulungi okutekateeka okulonda okwomubaka anakikirira ekitundu kye Bubulo West  omwali omubaka Tonny kipoi Okusinziira ku kakiiko, kuno kjlonda kwakubaawo nga 10th, omwezi ogwokuna omwaka guno Ssentebe wakakiiko kano  Eng. Badru Kiggundu  ategeezeza banamawuklire nti kuno okulonda kugenda kuwementa obukade.418 […]

Abakinjaaji balumbye kkooti

Ali Mivule

February 26th, 2014

No comments

Poliisi ekyayiriddwa okwetolola oluguudo Kafu e Nakasero oluvanyuma lwabakinjaji abasoba mu 500 okuva mu lufula yoku Portbell okuzingako kooti enkulu ekola ku byettaka. Bano bazze kuwulira musango gwawabwa naggaga  Hassan Basajjabalaba nga ayagala okwediza ettaka okutula lufula eno. Ekibinka kino nga kikulembeddwamu ssentebe  Abbey Mugumba […]

Katemba nga Lukwago atongoza ebitaala

Ali Mivule

February 26th, 2014

No comments

Nate Katemba abadde ku luguudo lwa Kabaka njagala KCCA gyebadde egenze okutongoza ebitaala byokunguudo, nga kino kidiridde ba kansala okwekandagga nebava ku mukolo, omuloodi wa kampala Ssalongo Erias Lukwago bwazze naye okugwetabako . Abakozi mu kcca bonna babuzeewo ,olwo aba Lukwago nebidiza omukolo era loodi […]

Japan ekyebuuza ku bisiyaga

Ali Mivule

February 26th, 2014

No comments

Gavumenti ya Japan etegezezza nga okusala obuyambi ku Uganda olweteeka ly’ebisiyaga bwekitajja kumalawo buzibu ku teeka lino nga era enkolagana y’amawanga abiri esukka ku by’ebisiyaga. Bwabadde ayogerako eri banamawulire olunaku olwaleero , omubaka wa Japan mu uganda  Junzo Fujita, ategezezza nga Japan bwegoberera amateeka g’ensi […]

Tukooye okutuboola- ababeera mu bukiikakkono

Ali Mivule

February 25th, 2014

No comments

Ababaka ba palamenti abakyala bavuddeyo ku basajja abagufudde omuze okwambula abakyala mbu bambadde enkunamyo Nga boogerako eri bannamawulire, ababaka bano nga bakulembeddwaamu abakulira Betty Amongi bagambye nti akategeezebwa ku bakyala 3 abakambulwa Amyuka abakulira Grace Nyakikongolo agamba nti etteeka ku buseegu naddala akawaayiro akoogera ku […]

Ebigezo bifulumye, ebya baana lukumi bikwatiddwa

Ali Mivule

February 25th, 2014

No comments

Ebigezo ebikolebwa abayizi ba siniya y’okuna omwaka oguwedde bifulumye. Kyeyolese bulungi nti abayizi ku luno baakoze bubi bw’ogerageranya omwaka guli Abayizi emitwaalo ebiri beebayitidde mu ddaala erisooka, ate abayizi emitwalo ena beebayitidde mu ddala ery’okubiri ate ng’abayizi abasoba mu mitwalo ebiri bbo bagudde ebigezo. Okutwaliza […]

Ebigezo bya S.4 bifulumye- abayizi bakoze bubi

Ali Mivule

February 25th, 2014

No comments

  Ebigezo bya siniya y’okuna bifulumye, abalenzi bakubye abawala mu sayansi ate abawala nebakuba abalenzi mu luzungu ne Literature.Abayizi tebakoze bulungi nnyo okugerageranya n’omwaka guli. Olungereza lwelusinze okukolebwa obulungi ne literature   Ebigezo by’abayizi abasoba mu 1000 bikwatiddwa lwakubba bigezo

Ebigezo bifuluma akadde konna

Ali Mivule

February 25th, 2014

No comments

Ebya mu bigezo bya s4 omwaka oguwedde bifuluma akadde konna Abakungu abagenda okubifulumya bamaze okutuuka ku kizimbe kya Satistics house mu Kampala. Mu batuuse kwekuli omuwandiisi w’ekitongole ky’ebigezo, Mathew Bukenya, akikulira Fagil Mande n’abakungu abatali bamu Abayizi abali eyo mu 295,472 bebatuula ebigezo bino omwaka […]