Amawulire

aba DP bajaguza myaka 60

Ali Mivule

March 1st, 2014

No comments

mao

Ekibiina kya Democratic Party kyewozezzaako ku ky’okulemererwa okuyingira mu buyinza emyaka emingi gyekimaze nga wekiri.

Okwewozaako kuno kuzze ng’ekibiina kno kikuza emyaka 60 bukyanga itandikibwaawo.

Ssabawandiisi wa DP Matia Nsubuga agamba nti embeera y’ebyobufuzi mu Uganda tebaberedde nyangu ng’ekolera abo abali mu buyinza

Ono era agamba n’eky’okusiba ebibiina okukola nakyo kyabakosa nnyo kyokka ng’omudde tebunnayita kubanga batandise okwetegeka